Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi ekutte Jamshid Kavuma kanyama w’akutte bbendera y’ekibiina kya National Unity Platform(NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, agiyambeko mu kunoonyereza kweriko.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/12/Kawuma.png)
Kino kiddiridde omuntu atannategeerekeka okukasuka akakebe ka ttiyaggaasi okuliraana omubaka Kyagulanyi bwe yali awanyisiganya ebigambo ne poliisi bwe yali emutangira okweyongerayo.
Okusooka waliwo akatambi akaafulumiziddwa nga kalaga ng’omu ku bakanyama ba Bobi Wine nti ye yakasuka akakebe kano akaayabika ne kalumya omu ku bakuumi ba Kyagulanyi.
Wabula ate akatambi akaafulumizibwa ab’omukutu gwa NBS, kalaga nti akakebe kano kaakubwa okuva ku mmotoka ya bapoliisi.
Wadde bino byali bwe bityo, omwogezi wa poliisi, Fred Enanga, yategeeza nti bakyanoonya Ariho abannyonnyole ku kakebe ka ttiyaggaasi ke yalina.
Ariho yakwatiddwa e Bubulo mu Manafwa, bwe yabadde ku lukung’aana lwa Kyagulanyi. Kati omu ku bannamateeka ba NUP alumiriza nti Kavuma naye yakwatiddwa ab’ebyokwerinda ku wiikendi era ng’akuumirwa ku poliisi e Kasangati.
Malende ategeezezza nti Kavuma yakwatiddwa ku by’okulemesa poliisi okukola emirimu gyayo wamu n’okukuma mu bantu omuliro.
Ono agamba nti agenze ku poliisi eno okulaba nga Kavuma ayimbulwa ku kakalu ka poliisi oba atwalibwe mu kkooti, wabula nga byonna bikyagaanye.
Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga ategeezezza nti ye kyamanyi kwe kukwatibwa kwa Ariho era nga tannafuna mawulire gonna ku kukwatibwa kwa Kavuma.
Okusinziira ku Enanga, Ariho akuumirwa ku poliisi e Kireka era ng’abakola ku musango gwe bateekateeka fayiro ye asobole okutwalibwa mu kkooti wiiki eno.
Ku wiikendi, Kyagulanyi yategeezezza ng’emisango egyateereddwa ku Ariho bwegiri emipange era nga kino kiraga nti gavumenti egezaako okukwata n’okutulugunya abantu be okumumalamu amaanyi ekintu ky’agamba nti tekigenda kusoboka.