Bya URN
Abantu 11 bakwatiddwa nga bavunaana okukuba omuyimbi Moses Ssali amanyiddwa ennyo nga Bebe Cool amayinja n’obucupa bweyabadde mu kivvulu ky’omuyimbi Cinderella Sanyu amanyiddwa ennyo nga Cindy.
Guno mulundi gwakubiri nga Bebe Cool agwa kukibambulira kino.
Ogwasooka yali kukivvulu ky’omuyimbi okuva e Jamaican Tyrrus Rilley mu Kampala.
Emirundi gyombi, Bebe Cool agaanira ku siteegi newankubadde kino tekiremesa bucupa kwesooza.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga yagambye nti abasajja baabwe abaabadde bayiiriddwa mu kivvulu kino bebayaambye okukwata abo bonna abaabadde bakasuka obucupa.
Mubaakwatiddwa mwabaddemu,
Ssempala Juma, Otim Ashraf, Nasur
Nyanzi, Kasule Herman, Kasim Ssemwogere, Lubaga Fahima, Jawad Jimmy, Muhwezi
Gift, Habuyi Suleiman, Habimana Innocent ne Ndabangi Godwin.
Poliisi okuvaayo kidiridde mutabani wa pulezidneti, Muhozi Kainerugaba okubagugumbula ng’ayitira ku kibanja kye ekya Tweeter olw’okulemererwa okukwata abo bonna abaakoze kino k’omu ku bayimbi abasing ettuttumu mu Uganda.
Enanga yagambye nti tebannaba
kulaba oba waliwo akakwate n’ebyobufuzi kwebyo ebituuka ku Bebe Cool omuwagizi
wa pulezidenti Museveni lukulwe.