• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Poliisi ekubye bannamawulire nga Kyagulanyi agenda ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu aka UN

Gambuuze by Gambuuze
February 17, 2021
in Amawulire
0 0
0
Poliisi ekubye bannamawulire nga Kyagulanyi agenda ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu aka UN
0
SHARES
15
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Kampala

Bannamawulire ababadde bakwata amawulire ga Robert Kyagulanyi ne banne nga batwala ekiwandiiko ku kakiiko k’ensi yonna ak’eddembe ly’obuntu, bakiguddeko abapoliisi awamu n’amagye bwe babasazeeko ne batandika okubakuba era okukakkana ng’abawerako bafunye ebisago.

Omu ku bannamawulire abakubiddwa ab’amajje

Bano babasaliddeko Kololo wabweru w’ekitebe kino wakati nga Kyagulanyi ne banne balinze abakulira akakiiko kano okubasisinkana babakwase ekiwandiiko kyabwe ekyemulugunya ku ngeri abantu baabwe ab’enjawulo gye bazze bawambibwa ab’ebyokwerinda abatambulira mu mmotoka ezimanyiddwa nga ‘Drone.’

Poliisi yasoose kusalako nguudo zonna ekituuka ku kitebe kino mu ngeri y’okunyweza eby’okwerinda era obwedda buli mmotoka esalimbira okumpi n’ekifo kino esooka kwekenneenyezebwa.

Kyagulanyi abadde awerekeddwako; omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, Ssaabawandiisi Lewis Lubongoya, Omubaka  Derrick Nyeko, Aloysius Mukasa awamu n’abalala.

Bannamawulire abalumiziddwa kuliko; Irene Abalo owa Daily Monitor, Josephine Makumbi owa NBS , Timothy Murungi owa New Vision ne John Cliff Wamala owa NTV.

John Cliff Wamala awamu n’abalala bafunye ebisago ku mutwe era balabiddwako nga bavaamu omusaayi ne baddusibwa mu malwaliro nga bali mu bulumi.

Abamu ku bannamawulire bategeezezza nti amagye ne poliisi bwe batuuse ne bakuba buli gwe basanze nga bwe babagamba nti we babadde wabadde walina kubaawo abantu basatu bokka nga kuno kuliko Kyagulanyi awamu n’abakungu b’ekibiina kye babiri.

Omubaka omulonde owa Makindye West, Derrick Nyeko y’omu ku balozezza ku bukambwe bwa poliisi, era ono n’emmotoka mw’abadde atambulira eyasiddwa endabirwamu y’omu maaso.

Nyeko avumiridde ebikolwa bya poliisi n’ategeeza nti babadde mu ddembe naye olw’okuba poliisi tekyalina nsonyi esazeewo okubakubira ne ku kitebe ky’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku ddembe ly’obuntu nga tebaliina musango.

Kino kiddiridde omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, okuvaayo n’alabula Kyagulanyi ne banne obutagezaako kukung’aanya bantu  era ne bamuwa abantu basatu bokka balina okutambula nabo okugenda ku kitebe kino.

Kyagulanyi yasinzidde ku kitebe ky’ekibiina kye eggulo n’akunga abantu ababuliddwako abaabwe okumwegattako olwaleero batwale ekiwandiiko ekiraga okwemulugunya kwabwe eri  akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte akakola ku ddembe ly’obuntu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.