Musasi Waffe

Olwaleero Poliisi ekoze ebikwekweto mu Kampala n’emirirwano mweboyedde boda boda ezisukka mu 200.
Okusinziira ku Patrick Oyango ayogerere Poliisi y’ekitundu kino, kino kikoleddwa olw’abavuzi ba boda boda abeeyongedde okujeemera ebiragiro bya gavumenti ku kuziyiza ekirwadde kya coronavirus.
Okuzinziira ku, Onyango Poliisi teyakomye kukwata boda boda zokka, wabula yaggalidde n’abavuzi wamu n’abasaabaze abaabadde bazitambuliriko.
Omukulembeze w’eggwanga mu mwezi gw’okusatu omwaka guno yawera boda boda okutambuza abasaabaze ssaako n’okuziragira okukoma okutambula ssaawa kkumi nemu ez’olweggulo.
“Abantu abe’njawulo bakwatiddwa era baakuvunaanibwa mu kkooti olw’okujeemera ebiragiro ebiri mu mateeka ng’era kino kiyinza okuvaako okusaasaana kw’ekirwadde kya coronavirus mu ggwanga,” Onyango bweyagambye.
Poliisi ekubirizza abantu okulekeraawo okujeemera ebirgiro bino.
Bagambye bano bebakutte baakukola ng’ekyokulabirako eri abalala.









