Musasi waffe
Poliisi mu Kmaapla nga bali wamu n’abasirikale b’eggye ekkuuma byalo aba LDU bakadde kuzingako katale ke wa Kiseka okulemesa abasuubuzi okuggulawo amaduuka gabwe.
Eggulo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yakkirizza galagi omukanikibwa emmotoka okuddamu okukola ng’agamba nti emmotoka enneetissi z’ebyamaguzi zeyakkiriza okusigala nga zikola zirina okukanikibwa.
Bweyabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi k’eggulo Museveni yagambye newankubadde ng’akawuka ka coronavirus kakyaliwo, tekakyali kaabulabe nnyo olw’engeri gavumenti gyekuttemu kaweefube w’okukalwanyisa.
Olwa leero, abasuubuzi bakedde kweyiwa mu kibuga nga bagamba nti omuggalo ku mirimu gybawe gwagyiddwo.
Kyokka abamu ku b’ebyokwerinda bataayagadde kwatuukirizibwa mannya bategeezezza nti Museveni ebiragirobye bitandika nkya okukola so so leero.
Kyokka era baategeezezza nti amaduuka g’ewa Kiseka si galagi omukulu zeyayogeddeko.
Ewa Kiseka wawasinga okutundibwa sipeeya w’ebudduka mu ggwanga.