Ebitongole by’ebyokwerinda nga bikulembeddwamu poliisi n’amajje olwaleero basiibye bagobagana na bavuzi ba boda boda abaganye okugondera ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga ekiwera okutambulira mu bidduka eby’olukale.
Eggulo, President Yoweri Kaguta Museveni yayimirizza boda boda, takisi ne baasi zonna ezitambuza abantu ez’olukale mu kaweefube wa gavumenti okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya COVID-19 mu ggwanga.
Yagambye nti boda boda zikkirizibwa kutambuza migugu gyokka.
Kyokka mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo, aba boda boda balabiddwako nga batambuuza abantu okwawukana ku kiragiro.
Abaserikale ababadd ebayiiribbwa ku nguudo ez’enjawulo babakubye emiggo bombi, omuvuzi n’omusaabaza.
Mu bitundu ebimu abasirikale babadde bawamba ne zi bodaboda.
“Mwagala tulyeki bannange, mutuleke ffe tukole,” owa boda boda ataategeerekeseeko linnya bweyawuliddwa nga agamba abasirikale wakati mu mbooko.
Ekirwadde kya COVID-19 ekyabalukawo munsi yonna nga kitandikira e China kyakatta abantu abasoba mu 21,000 n’abalala 468,644 kyabaayoola nga abamu bali ku ndiri.