Bya Musasi Waffe
Kampala
Poliisi evuddeyo n’esaba abantu ab’enjawulo obutagendera ku mawulire gatambuzibwa ku mutimbagano agalaga nga eyeesimbyewo ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bwakwatiddwa e Kalangala gy’abadde anoonya akalulu.
“Twagala okutangaaza nti eyeesimbyewo ono agaaniddwa kwongera kukuba nkung’aana olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyeyongedde awamu n’okujeemera ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda wamu ne Minisitule y’ebyobulamu. Ono azziddwayo e Kampala mu maka ge e Magere,” ekiwandiiko kya poliisi bwe kitegeezezza.
Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okutandika okwekalakaasa okuggala enguudo n’okwekalakaasa nga bawakanya eky’okumukwata.
Ku makya ga leero waliwo ennyonyi y’amagye eyasindikiddwa e Kalangala, nga Bobi Wine agendayo era ng’eno y’egambibwa okweyambisibwa okumuggya ku kizinga kino.
Poliisi era ekakasizza nga bwe waliwo abamu ku ba ttiimu ya Kyagulanyi abakwatiddwa olw’okulabikira ku butambi bwa Kkamera nga baggya omupiira mu mmotoka za poliisi, okukuma mu bantu omuliro n’okulemesa abapoliisi okukola emirimu gyabwe.
Okusinziira ku ntegeka z’akakiiko k’ebyokulonda, olwaleero Kyagulanyi abadde alina kubeera Kalangala era ku makya e Kidyeri ekyatutte emmotoka za Kyagulanyi era ze zaatutte n’ebimmotoka bya ttiyaggaasi.
Bannamawulire ababadde bakwata amawulire nabo poliisi tebatalizza wadde ng’oluvannyuma bano bayimbuddwa.
Ab’ebyokwerinda okuli; poliisi ekkakkanya obujagalalo wamu ne bannamagye be bayunguddwa okuyambako poliisi y’omu kitundu kino okukkakkanya embeera ebadde etandise okwonooneka.
Mu kulonda okuwedde mu 2016, Pulezidenti Museveni yawangula ekitundu kya Kalangala n’ebitundu 53 ku buli 100 ate nga munne bwe baali ku mbiranye Dr. Kizza Besigye, yafuna ebitundu 42 ku buli 100.