
Bya Ssemakula John
Kampala
Abayizi abalenzi abatuula ebibuuzo by’ekyomusanvu (Primary Leaving Examinations -PLE)) omwaka oguwedde ogwa 2022 bakoze bulungi okusinga ku bawala mu masomo agasinga obungi.
Akulira ekitongole ki Uganda National Examinations Board (UNEB), Daniel Odongo ategeezezza nti ku baana 811,863 abatuula ebibuuzo, 400,100 bali balenzi ate 432,554 bawala.
Odongo agamba nti wadde abawala bakoze bulungi mu Luzungu naye ate abalenzi bakoze bulungi mu masomo agasigadde omuli ‘Social Studies and Religious Education, Intergrated Science’ n’okubala (Mathematics).
Ono annyonnyodde nti ebintu bwebiti bwebize bibeera mu myaka gyonna egiyise.









