Bya Ssemakula John
Kampala
Kkampuni ya Plascon ekola langi wamu ne Stanbic Bbanka, beegasse okuteeka ssente mu Uganda Cup ku ndagaano ey’emyaka ebiri ebalirirwamu obukadde bwa Ssiringi 132. Kino kyalangiriddwa ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti ewedde mu lukung’aana lwa bannamawulire olwayindidde mu Kampala.
Bwe yabadde ayogerako eri abagenyi omwabadde Minisita w’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi n’abakungu okuva mu FUFA, akulira Plascon, Santosh Gumte yategeezezza nti kino kyoleka obumalirivu bwe balina nga kkampuni okutumbula eby’emizannyo mu ggwanga.
“Guno gubadde mukisa okulaba bwe tuli abeetegefu okuwagira ebyemizannyo mu ggwanga. Tubadde twakamala okukola endagaano ne kkiraabu ya Vipers SC era nga tulina ne ttiimu mu muzannyo gwa Rugby.” Santosh bwe yagambye.
Minisita Nakiwala Kiyingi yasiimye aba Plascon okukwatagana ne FUFA bakulaakulanye ebyemizannyo.
Okujja kwa Plascon kutegeeza nti ekirabo omuwanguzi kyatwala kyeyongeddeko nga mu myaka 2 egijja, omuwanguzi waakutwala obukadde 50 okuva ku bukadde 30 obubaddewo.
Akulira ebyokuvuganya ku kibiina kya FUFA, Hajjat Aisha Nalule yannyonnyodde nti empaka z’omwaka guno zigenda kuzannyibwa mu ngeri ya njawulo olw’ekirwadde kya COVID-19.
Okusinziira ku Nalule, ttiimu ezigenda okuzannya omulundi guno, zigenda kubeera ntono nga zigenda kubeera 32 zokka okuva mu Uganda Premier League ne Fufa Big League. Empaka zino zaakutandika mu mwezi ogujja Ogwokuna nga 5, ate empaka z’akamalirizo zisambibwe nga 24 Ogwomusanvu, 2021 ku kifo ekinaalangirirwa. Omuwanguzi w’empaka zino y’anaakiikirira Uganda mu kikopo kya Afrika ekya Caf Confederation Cup.
Engabana ya ssente zino;
Omuwanguzi – 50m
Owookubiri – 20m
Abatuuse ku Semi – 12m buli omu
Abatuuse ku Quarter –6m buli omu
Abakomye ku ‘Round of’ 16 – 3m buli omu
Abakomye ku Round of 32 – 1.5m buli omu.