Bya Ssemakula John
Bulange
Oluvannyuma lw’emyaka 17 ng’aweereza ku leediyo ya Ssaabasajja Kabaka, munnakatemba Patricko Mujuuka alekulidde omulimu gwe n’asalawo okuyingira eby’obufuzi.
Olunaku lw’eggulo ku Mmande, Mujuuka lwe yasembyeyo okukola pulogulaamu ya Mukeeze ne Annie Ssebunnya ku CBS Emmanduso 89.2, ebeerawo buli ku makya okuva 12 -3 ez’okumakya.
Ono yakozesezza akakisa kano okusiibula ababadde bamuwuliriza, bakozi banne wamu n’ababadde bateeka mu pulogulaamu eno ensimbi olw’obuwagizi bwe bamuwadde.
“Eno ye pulogulaamu yange esembyeyo oluvannyuma lw’emyaka 17. Abamu tubadde tufuuse baluganda era nga pulogulaamu ya Mukeeze y’ebadde etugatta. Nneebaza Ssaabasajja olw’okusiima nfuuke omu ku ttiimu ya CBS okutuuka essaawa ya leero,” Mujuuka bwe yagambye.
Mujuuka obuufu abwolekezza byabufuzi era nga yeegwanyiza kuvuganya ku bubaka bwa Nakifuma mu Palamenti mu kalulu ka 2021. Ayagala kuggyayo Munna NRM, Robert Kafeero Ssekitoleko.
Ono yavaayo n’alaga nti agenda kwesimbawo ku lulwe bwe yalemererwa okufuna kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) ekikulemberwa munywanyi we Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.
Mujuuka y’omu ku bantu abasuubirwa okuwangula akalulu kano olw’obuganzi bw’afunye ku leediyo ya CBS okumala emyaka 17 ng’aweereza pulogulaamu okuli Mukeeze, Mulengera gye yakolanga n’omumbejja Sheila Nvannungi awamu ne Musanyusa.