Palamenti olwaleero eyisizza ennyongereza mu mbalirira y’eggwanga y’akase kamu n’obukadde 870 [1.087 trillion] ziyambe minisitule; ey’ebyobulamu, ey’entambula n’eyobusuubuzi okukola ku kirwadde kya Covid-19.
Ennyongereze eno wejjidde nga wabula ennaku nnya zokka omwaka gw’ebyensimbi 2019/2020 gugweko ku nkomerero y’omwezi guno.
Alipooti y’akakiiko akakola ku mbalirira y’eggwanga akakulirwa omubaka Amos Lugolobi yakkiriza gavumenti okufuna ennyongereza eno.
Ku ssente ezaayisiddwa, minisitule y’ebyobulamu yakukozesaako obuwumbi 89 okugiyamba okukola ku nsonga ez’enjawulo ez’ekirwadde kya Covid-19.
Kuzino, baakugulako obukookolo bwa siringi obuwumbi 33 nga buli kamu kaakugula ssente za Uganda 2400.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni gyebuvuddeko yagamba nti buli Munnayuganda okuva ku myaka mukaaga yali waakuweebwa akakookolo okutangira okusaasaana kwa covid-19.
Minisitule era yaakukozesa obuwumbi 2.3 okutambuza obukookolo buno mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Obuwumbi 37 ate bbo bwakukozesebwa okugula kits ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa covid-19.
Eno y’ennyongereza ya minisitule y’ebobulamu ey’okubiri bukyanga kirwadde kya coronavirus kibalukawo mu Uganda.
Baano baali baaweebwa dda obuwumbi 119 okubayambako era okulwanyisa ekirwadde kino.
Woofiisi ya Ssaabaminisita nayo eweereddwa obuwumbi 45 okuyamba ku mataba wamu n’amazzi egeeyongera mu nnyanja n’emigga.
Banka ya Uganda Development Bank nayo yakufuna obuwumbi 455.18 okusobola okuziwola banneekolera gyange abakoseddwa ennyo ekirwadde kya covid-19.
Ku ludda olulala ekitongole ekiwozi ky’essente naye nga kiwola bizinensi entonotono, ekimanyiddwa nga Microfinance Support Centre, kyakuweebwa obuwumbi 50.
Obuwumbi 10 bwaweereddwa minisitule y’ebyobulimi ate obuwumbi 100 ne buteekebwa mu Uganda Development Corporation.
Minisitule y’ebyassanyansi eweereddwa obuwumbi 17.18, Uganda Revenue Authority neeweebwa obuwumbi 45.67, ekitongole ky’amakomera nekiweebwa 10.78 ate poliisi neweebwa obuwumbi 41.69.
Newankubadde nga yatadde omukono ku alipoota y’akakiiko, omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Dokolo Cecilia Ogwal yagambye tekisoboka kukozesa ssente zino munnaku embala ezisigaddeyo omwaka gw’ebyensimbi guno gugweko.
Yagambye gavumenti kekaseera eveeyo n’enteekateeka ey’omuggundo mwegendera okuyamba ebitongole ebikoseddwa covid-19.
URN