![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/05/Rebecca-Kadaga.png)
Okukiiko lw’eggwanga olukulu lwagala gavumenti eyongezeeyo obudde bwa kafiyu okuva ku ssaawa emu ezakawungeezi zaatandika okusobozesa Bannayuganda okutambula nga tebeeraliikirira kukwatibwa basirikale.
Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga yategeezezza nti kizibu abantu okussa munkola kafiyu atandika ku ssaawa 1:00 okukoma ku ssaawa 12:30 ez’okumakya oluvanyuma lwa gavumenti okukkiriza abantu okuddamu okukola.
Ku lw’okubiri emmotoka z’obuyonjo bwezaddamu okutambula, Poliisi yawamba emmotoka mpitirivu oluvannyuma lwabannanyinizo okukwatibwa kafiyu nga bakyali ku luguudo.
Ababaka Henry Maurice Kibalya, Franca Judith Akello ne Gaffa Mbwatekamwa, baasabye Pulezidenti Museveni okuwa ekisonyiwo abo bonna abaakwatiddwa kubanga tebaakikoze mu bugenderere.
Akalippagano k’ebidduka kaasukka obunene ku lw’okubiri olw’abantu abangi abagyayo emmotoka zaabwe oluvannyuma lw’emyezi ebiri n’ekitundu nga ziwereddwa okutambula olw’okusobozesa okutangira esaasaana y’ekirwadde kya coronavirus mu ggwanga.
Kibalya yategeezezza nti abantu bangi abakubiddwa wamu n’okuttibwa abakuumaddembe olw’okusangibwa nga batambula mu budde bwa kafiyu.
Franca Akello omubaka we disitulikiti y’e Agago naye yategeezezza nti abantu be bangi nabo batuusiddwako obulabe obw’enjawulo olw’okusangibwa nga batamabula mu budde bwa Kafiyu.
Ate ye, Omubaka we Kasambya, Gaffa Mbwatekamwa yategeezezza nti toyinza kukkiriza bantu kuddamu kuvuga mmotoka zaabwe ate n’otayongezaayo budde bwa kafiyu olw’akalippagano k’ebidduka akabeera ku nguudo.
Kululwe, Rebecca Kadaga yategeezezza nti okuleka nga gavumenti yakukendeeza ku budde abantu bwebakolerako, bagenda kugenda mu maaso nga bakwata abantu bangi abanaasangibwa ku luguudo ng’obudde bwa kafiyu butuuse.
Yasabye Pulezidenti Museveni okwongerayo obudde buno okuyamba Bannayuganda okutambula mu ddembe.
URN