Bya Ssemakula John
Kampala
Eby’akakiiko k’amateeka n’ensonga za Palamenti okwongeza emyaka gy’ekisanja ky’abakulembeze bonna abalondebwa okutuuka ku myaka 7 bigaaniddwa ababaka.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/02/Palamenti.png)
Okusinziira ku alipoota eyagenderera okukola ennongosereza mu Ssemateeka eya 2019 nga yali ekulembeddwamu omubaka Wilfred Niwagaba owa Ndorwa East, akakiiko kabadde kaagala gavumenti etunule mu kyongeza ekisanja kifuuke kya myaka 7 era abamu ku bannayuganda batandikiddewo okukikuba.
“Tulowooza nga akakiiko nti emyaka 5 tegimala okusobola okutuukiriza manifesito nokusobola okuteekawo enkulaakulana mu ggwanga,” bwetyo alipoota bwe yasomye.
Bano bagattako nti,“tusaba gavumenti etandike enteekateeka z’okwongeza ekisanja kya woofiisi zonna ezironderwamu abantu okutuuka ku myaka 7 wakati mukugoberera ssemateeka wabula kino tekirina kutwaliramu palamenti eno eriko.”
Ekiteeso kino kyatadde bannakyewa ne bannamawulire ku bunkenke era abamu balumbiddewo akakiiko kano nga bagamba nti kasusse okweyagaliza nobutafa ku bantu.
Ssentebe w’akakiiko kano, Jacob Marksons Oboth yasanze akaseera akazibu okumatiza ababaka abamu ku bwetaavu bwokwongeza ekisanja.
Omubaka Francis Mwijukye (FDC, Buhweju), yabigaanye nategeeza nti akakiiko kabadde kagezaako kubatwala mukukemebwa.
Omubaka wa West Budama North, Richard Othieno yagambye nti okusaba kuno kusuulibwe naye ono Oboth Oboth yamuyingiddemu nategeeza nti kuno tekwabadde kubakema naye bakikola lwa bulungi bwa ggwanga era ababaka babadde bagisawuzizza.
Othieno yawagidde eky’okuggya abakiise b’amajje mu palamenti kuba galina oludda lwegawagira ekigalemesa okulonda obulungi.
Minisita w’ensonga z’amateeka, Prof Ephraim Kamuntu yagezezaako okulemesa okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno nga agamba ababaka tebawera muwendo gwasalira wabula nalemererwa.
Kamuntu yagambye nti ebbago lino lyabadde ligezaako kusuula ssemateeka nategeeza nti eby’okukola ennongosereza ku katundu akatono ennyo aka ssemateeka kinafuya Ssemateeka.
Ku nsonga eno Sipiika Rebecca Kadaga yagambye nti gavumenti yalemererwa okuleeta ennongosereza zonna ezaalagirwa okukolebwa mu Ssemateeka nolwekyo terina kwekwasa.
Gyebyagweredde nga eby’emyaka omusanvu ababaka babigobye wabula nebasemba okuzzaawo ebisanja era bibeere nga tebisuka bibiri.