Bya Ssemakula John
Kampala
Palamenti y’eggwanga enkya ya leero ku Mmande ekakasizza okulondebwa Jessica Alupo ng’omumyuka wa Pulezidenti. Ekiteeso ky’okukakasa omubaka omukyala wa Katakwi, Jessica Alupo kyaleeteddwa omubaka wa Ruhinda North, Thomas Tayebwa.
Okuyitamu kwa Alupo kwalangiriddwa omumyuka wa Sipiika Anita Among oluvannyuma lw’ababaka bonna ababaddewo okumusemba era omubaka omu yekka y’akiwakanyizza.
Oluvannyuma lw’okuyitamu, Alupo yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okumuwa omukisa okuweereza mu kifo kino era ne yeeyama obuvunaanyizibwa obumuweereddwa okubukola n’amaanyi ge gonna.
Kati Alupo y’azze mu bigere bya Edward Kiwanuka Ssekandi era ye mukyala owookubiri okutuula mu kifo kino ng’eyasooka ye Specioza Wandera Kazibwe.
Alupo ng’ono musomesa mutendeke, yayingira mu by’obufuzi mu 2001 ate mu 2006 n’avuganya ku ky’Omubaka ku kkaadi ya NRM era n’awangula.
Mu 2009 yalondebwa nga Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana. Mu 2011 yaddamu okulondebwa ng’omubaka era ku kabineeti eyaddako n’afuulibwa Minisita omujjuvu ow’ebyenjigiriza n’adda mu bigere bya Namirembe Bitamazire.
Wiiki ewedde yalondeddwa okubeera omumyuka wa Pulezidenti.
Alupo muyivu ng’alina ddiguli mu by’obufuzi n’ennimi era ne ddipulooma mu nkulembera y’abantu okuva mu Makerere University.
Ono alina ddiguli eyookubiri mu nkolagana z’amawanga ne ddipulooma endala mu nkulembera y’abantu okuva e Makerere.