Bya Ssemakula John
Kampala
Olwaleero giweze emyaka 100 bukya Palamenti ya Uganda etondebwawo mu 1921 era omumyuka akulira eby’amawulire n’empuliziganya mu Palamenti, Hellen Kaweesa, agamba nti mukakafu ku kya Palamenti okunyweza enfuga eya demokulaasiya emyaka 100 egiyise.
Ebikujjuko bino bikwatiddwa mu ngeri ya kimpowooze olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekikyalemesezza abantu okukung’aana.
Oluvannyuma ababaka bayisizza ekiteeso ekijjukira emyaka 100 bukyanga Palamenti entondebwawo.
Ku ngeri Palamenti gy’ezze ekolamu, Kaweesa agamba nti wadde wakyaliwo ebisoomooza naye Palamenti ekyuse, omuwendo gw’ababaka gweyongedde era n’abantu kati babeera bagoberera ensonga eziri mu Palamenti okusinga bwekyali.
“Palamenti eno nnene emirundi etaano okusinga eyasooka, ekisenge ekyasookerwamu kyali kya babaka 100 bokka naye kati mu Palamenti ey’e 11 bajja kusoba mu 500. Noolwekyo tukyasoomoozebwa ekifo kuba tulina okukigaziya.” Kaweesa bw’annyonnyodde.
Kaweesa agasseeko nti enfuga ya demokulaasiya, ababaka ba Palamenti bagyettanidde nnyo ekireeseewo obwerufu.
Ono agamba nti kati basoomoozebwa omuwendo gw’ababaka abato ogweyongedde ate nga n’ebitundu bye balina okukiikirira bikyali bingi, ekitegeeza nti ababaka bakyeyongera.
Kaweesa alaze okutya olw’omutindo gw’ababaka oguserebye yo nga Palamenti n’ategeeza nti balina eddimu okubabangula ate nga n’abamu ku bantu tebategeera buvunaanyizibwa bwa babaka nga bababanja ebintu bingi ebitali buvunaanyizibwa bwabwe
“Obuvunaanyizibwa bwabwe tebunnategeerebwa, abamu basaba ababaka ebintu bingi okuli; amasomero, amalwaliro wadde nga kino kiva ku babaka okusuubiza ensi n’e Ggulu nga banoonya akalulu. Noolwekyo tulina okubasomesa bamanye obuvunaanyizibwa bwabwe.” Kaweesa bw’ategeezezza.