Bya Stephen Kulubasi
Omusumba wa Omega Healing Center esangibwa e Namasuba omanyiddwa nga Michel Kyazze, awonze Robert Kyagulanyi Ssentamu abangi gwe bayita Bobi Wine mu mikono gya Katonda era n’amusabira okuwangula akalulu k’obwapulezidenti akagenda okulondebwa nga 14 omwezi guno.
Omusumba Kyazze akakasizza Kyagulanyi olw’ebyo by’akola mbu birimu ekigambo kya Katonda nti era biri mu mateeka.
“Mukama agenda kukuwa ekisa obeere mugumu ebintu ne bwe binaabeera bikakali. Tolina kibi ky’okoze okuyimirirawo ku lw’ekyo ky’okkiririzaamu.” Kyazze bwe yategeezezza Kyagulanyi. Omusumba era yasabye abeetabye mu kusaba kuno beenyigire mu kulonda ate balondese magezi okusobola okutwala eggwanga mu maaso. Bino byabaddewo ku Ssabbiiti eyasoose mu mwaka guno, akwatidde NUP bbendera mu kuvuganya ku ntebe y’eggwanga bwe yasazeewo okusabira mu kkanisa eno ng’akoowoola omwoyo wa Mukama amukwatizeeko ku kiruubirirwa kye.
Mu kwogera kwe, Kyagulanyi yasoose kutendereza Musumba Kyazze olw’okumukkiriza okwetaba mu kusaba n’agamba mbu bangi bamugobaganyizza olwekyo ky’ali. “Sigumu si ebiri, emirundi mingi ng’enze mu makanisa ag’enjawulo nga bansibira bweru era ng’abasumba bagamba mbu tebayinza kusabira wamu nange. Nkwebaza olw’okunnyaniriza.” Kyagulanyi bwe yategeezezza Omusumba.
Kyagulanyi yasoomoozezza abakulu b’amadiini abasaba bannayuganda okukuuma emirembe mu kalulu mbu bannansi ba Uganda tebayinza kukuuma mirembe nga waliwo obutali bwenkanya obukolebwa eri abantu be buli lukya. “Njagala mpozzi ate tusabire obwenkanya. Tewayinza kubaawo mirembe nga tewali bwenkanya. Nandyagadde okulaba abatukulira mu madiini nga bavumirira obutali bwenkanya obututuusibwako buli lunaku, mu ekyo buli omu ajja kuba n’emirembe. Tetuli bakaliffujjo.” Kyagulanyi bwe yayongeddeko.
Kyagulanyi bwe yabadde agenda e Namasuba, emmotoka ze zaasisinkanye n’oluseregende lw’emmotoka za Pulezidenti Museveni era abawagizi be ne basakanyiza waggulu nga bwe bayimba eng’ombo za NUP wamu n’okumusuuta wabula tewali mbeera y’amaanyi yateereddwawo. Ku lunaku lwa bbalaza Kyagulanyi asuubirwa okugenda mu buvanjuba bwa Uganda okuperereza abeeyo okumuwa obululu wadde ng’abasinga ku abo b’atambula nabo bakyali mu mikono gya poliisi.