
Bya Shafic Miiro
Kyaggwe
Minisita w’Obuwangwa
n’Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala akubirizza abazzukulu mu Bika bya Buganda byonna okwongera okujjumbira enteekateeka z’Ebika byabwe n’okulwanirira Ensi yaabwe nga basaabulula obulimba obusaasaanyizibwa abalabe ba Buganda, okubeŋŋanga n’okubambalira buli lwe bavvoola Obwakabaka.
Oweek. Anthony Wamala (PhD), bino abyogeredde Kyaggwe gy’akomekkerezza enteekateeka y’okulambula ebika mu ebirina ensibuko mu Ssaza eryo. Olwaleero alambudde obutaka bwe Nkusu e Ddungi ne Mpeewo e Bubiro, n’asaba Obuganda okuteeka amaanyi mu kunyweza obukulembeze bw’ebika, okukunga n’okwagazisa abazzukulu emirimu gy’ebika, okukuuma ebyobugagga by’ebika n’okutandikawo emimu egivaamu ensimbi.
Enteekateeka eno Minisita yagitandika n’okulambula ebika okuli Nnyange e Bulimu, Nakinsige e Mirembe, Nkejje e Namukuma, Njaza e Kkonko, Kibe e Wantaayi.

Minisita awerekeddwako Omutaka Kafumu, Kizito Batuuka, ku lwa Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omuky. Nakafu Esther akiikiridde Ssekiboobo, Omw. Sekabembe Patrick, atwala ebyobuwangwa mu Kyaggwe, abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku mitendera egy’enjawulo mu Kyaggwe n’abaweereza









