Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era Ssentebe wa Bboodi y’ekitongole ki Habitat for Humanity – Uganda, aweze okuyambako okutumbula embeera z’abantu abawangaalira mu byalo n’ebitundu by’omugotteko nabo basobole okufuna obulamu obweyagaza.
Obweyamo buno abuwadde atongoza Ttabamiruka w’ebyamayumba ku kitebe kyabwe e Kamwokya ku Lwokubiri gyebasisinkanye okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gyebasobola okutumbula ebyensula mu ggwanga.
Owek. Nsibirwa agamba okunoonyereza kulaga nti Uganda yeemu ku Mawanga g’Afirika agetanidde ennyo okuzaala nga tebatunuulidde nfuna yaabwe nga kati balina okubakwasizaako bakyuse embeera zabwe.
Ono alambuludde ezimu ku nsonga zebagenda okusimbako essira mu Ttabamiruka gwebatongozza era baakwogerezeganya n’ababaka ba palamenti bakwatire wamu ku mbeera eno.
Wabula Owek. Waggwa ategeezezza nti enteekateeka eno yaakuyamba nnyo mu kukulaakulanya ebibuga nga bazimbira abantu nnyumba ez’Omulembe eziteekeddwateekeddwa obulungi.
Ye akulira eby’okuzimba ennyumba mu minisitule y’ettaka, Okuzimba ennyumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Deve khayangayanga ategezezza nti ensisinkano eno nkulu nnyo era ejja kuyamba nnyo mukukulaakulanya eggwanga.
Kitegeerekese nti abantu abasoba mu bukadde 7 bebakyalina obwetaavu obw’okusula obulungi nga singa embeera yabwe ekyukamu basobola eziva ku kizinu kino.
Kinajjukirwa nti ekibiina kino ki Habitat for Humanity kyekimu ku bikoze ennyo okutumbula ebyensula by’abantu nga bayita mu kuzimbira abantu abeetaaga okubeerwa amayumba mu bifo by’omugotteko n’emisoso gy’ebyalo.