
Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu ba Buganda okukuuma obutiribiri ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lyabwe bweba baagala okulitaasa ku beesomye okulibba.
Omuwanika Nsibirwa agambye nti wadde abantu bangi batwaliddwako ettaka lyabwe mu ngeri etali ya bwenkanya naye bakyalina omukisa okulinunula kubanga tewali ajja kulisitula kulitwala, kyokka ebiwandiiko bwe bikuumibwa obulungi, ettaka liba lijja kununulwa akadde konna.
Obubaka buno Owek. Nsibirwa abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde obusobye mu 33 okuva mu Bannakyaddondwa.
Ono era asabye abazadde okulekerawo okutiitibya abaana ab’obulenzi, wabula babagunjule nga bwekikolebwa ku mwana omuwala, nabo basobole okuyiga emirimu baggwemu obwassemugayaavu olwo eggwanga lijja kuba n’ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Owek. Nsibirwa akuutidde abantu okwongera okwekuuma mukenenya n’okulaba ng’abaana bataasibwa naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula olugenda okuva oluwanvu ddala.

Bwatyo abeebazizza olw’okuwagira enteekateeka y’Oluwalo ne yeebaza Abaami olw’omulimu ogw’amaanyi gwebakola okulambula abantu ba Kabaka n’abasaba buli lwebabatuukirira okubatusaako amawulire agafa embuga ate n’okubafunako agafa ewaabwe, olwo lwebakiise embuga baloope buli nsonga, era abasuubizza ensonga zaabwe okukolebwakongako ng’era bwekikolebwa kati.
Ye Minisita wa Gavumenti Ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki, agamba nti abantu ba Beene bategedde nnyo omulamwa gw’okuzza Buganda ku ntikko nga kino kyeyolekedde mu ngeri emirimu gyegitambuzibwamu ku Magombolola n’Amasaza okwetoloola Buganda.
Yeebazizza Abaami ba Kabaka ab’eggombolola olw’obujjumbize n’okunnyikiza obuweereza mu bantu ba Kabaka.
Ssentebe w’Abavubuka mu Kyaddondo, Mw. Kasozi Lumunye Ronald ku lwa Kaggo, yeebaziza abantu olw’okujjumbira emirimu gya Ssaabasajja ku Ssaza, era n’abasaba okugenda mu maaso.
Ono era asabye abantu okulwanirira ettaka lya Beene nga beewala okumala gateeka mikono ku biwandiiko byattaka nga bwekyeyokera mu misango egy’enjawulo mu makooti.
Ate Mmeeya wa Divizoni ye Lubaga, Mbeeraze Zacy Mawula, ategeezezza nti abazungu bwebajja wano batendereza Buganda olw’okuba nti yateekebwateekebwa bulungi, bwatyo ne yeebaza Katikkiro ne Kabineeti ye olw’okukuuma ekifaananyi kino.
Oluwalo luno luvudde mu ggombolola 3 okuli eya Makindye Mutuba III, Mumyuka Nakawa ne Mukulu wa Kibuga, era nga wabaddewo Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannabyabufuzi ne Bannakyaddondo abalala.









