Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda, Owek. Waggwa Nsibirwa asabye abakulembeze ku mitendera gyonna okuteekawo ennambika entuufu erina okulung’amya abavubuka mu ggwanga kibayambe okwang’anga ebibasoomooza olwo basobole okukulaakulana.
Okwogera bino, Owek. Waggwa abadde mu Bulange – Mmengo ku Lwokubiri mu musomo gw’abavubuka ogwayindidde ku mutimbagano gwa ZOOM wansi w’omulamwa gw’okwang’anga ekizibu ky’ebbula ly’emirimu kye basanga ( Dealing with the pandemic of youth Unemployment)
“Abakulembeze ffenna ku buli mutendera katubeere abaami mu maka tulina okulambika abaana baffe ku ky’okukola. Omwana toyinza kumuleka nga yeebase n’azuukuka ku ssaawa 6 n’olowooza nti bw’alikula n’aweza emyaka 21 ng’amaze okusoma alibaako n’obwongo n’entegeera entuufu.” Owek. Waggwa bw’alambuludde.
Okusinziira ku Owek. Nsibirwa, abakulembeze mu masinzizo nabo balina okukyusa endowooza z’abantu nga babuulira ekigambo kya Katonda, ku mulimu gwabwe omukulu ogw’okulyowa emyoyo bagattemu okulambika abavubuka basobole okukozesa amaanyi n’amagezi okufuna kye bakola.
Ono annyonnyodde nti singa wabaawo enteekateeka mu bifo nga Namirembe okuyamba ku bavubuka nga babaako emirimu gye bakola ng’okwoza emmotoka, kijja kwanguwa okubafunira obuyambi okusinga okutambuza akabbo nga babasondera ebyetaagisa.
Owek. Waggwa asabye bannabyabufuzi okufaayo babuulirire abavubuka ku bye basobola okukola ng’okulima n’okulunda mu kifo ky’okwekwasanga gavumenti obutawa mirimu wadde nga kino kisobola okuba ekituufu wabula abavubuka bano balina we bayinza okutandikira mu byalo gye bali mu kifo ky’okubalaga ekituufu.
“Abavubuka tubakolemu omulungi kubanga ffe ng’abakulembeze tufunye omukisa okumanya okubasingako. Tubalage nti wadde tebatudde mu woofiisi balina kye basobola okukolera omuntu n’abasasula oba ne bakitunda ne bafuna ensimbi.” Owek. Waggwa bw’alambise.
Abavubuka abawadde amagezi obutegomba mirimu gya gavumenti kuba kijja kubabeerera kizibu okwebeezaawo ku mirimu egitandikirwako nga tebayize bukumpanya, abasabye okukozesa emikisa egiriwo okukola ensimbi.
Ye Ssentebe w’olukiiko olukulembera abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo yeebazizza Owek. Nsibirwa olw’okulambika kuno era n’asaba bavubuka banne okukomya okunyooma emirimu naye basitukiremu basobole okugoba obwavu.
Ssejjengo ategeezezza nti ebyogerwa tebigenda kukoma ku mpapula naye waliwo enteekateeka ey’okubiteeka mu nkola era baliko ne Ttabamiruka w’abavubuka gwe bagenda okutegeka okwongera okubangula abavubuka nga bayigira ku bannaabwe abasobodde okubaako kye batuukako.