• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Sserwanga alangiridde Obukulembeze bwa Nkobazambogo Obuggya, abasabye okunnyikiza ebiruubirirwa by’ekibiina

Gambuuze by Gambuuze
April 29, 2024
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Owek. Sserwanga alangiridde Obukulembeze bwa Nkobazambogo Obuggya, abasabye okunnyikiza ebiruubirirwa by’ekibiina
0
SHARES
32
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Mmengo – Kyaddondo

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone mu Bwakabaka,  Owek. Robert Serwanga, alangiridde obukulembeze bw’ekibiina ki  Nkobazambogo obuggya obw’okuntikko mu matendekero ag’awaggulu n’amasomero ga Siniya.

Ekirangiriro kino, Minisita Sserwanga akikoledde mu Bulange e Mmengo ku Mmande bw’abadde ayogerako eri bannamawulire kwebyo ebyava mu kulonda kw’ekibiina kino.

Owek. Sserwanga ayozaayozezza abafunye obuvunaanyizibwa naabasaba okukola ebibasuubirwamu basobole okunnyikiza emiramwa gy’ekibiina n’okukyagazisa abalala.

Ono asabye abagenda okuwummula okuluubira okuweereza mu bifo ebirala naddala mu byalo gyebava okwongera okunyweza obumu mu bavubuka.

Minisita abawadde entanda bulijjo okukola emikwano egigasa ssaako okubayamba mu nsi ey’okukola emirimu, okuzimba obulembeze obulungi, n’okwagazisa abaana mu masomero obuwangwa bwabwe olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.

Abalondeddwa abasabye okukola obuvunaanyizibwa bwabwe, n’obuyiiya, Obunyikivu, okwagala n’obwerufu nga bagatta ettofaali  ku kuzza Buganda ku ntikko.

Ye Ssentebe w’Olukiiko olulungamya ekibiina kino, Owek. Rashid Lukwago yeebaziza Minisita olw’okulungamya kw’abawadde okuyita mu kiseera eky’okulondesa abakulembeze ba Nkobazambogo era ategeezezza nti emitendera egyayitiddwamu gyabasobozesa okuvaayo n’abakulembeze ab’ensonga.

Okulonda kwetabwamu abayizi okuva mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo, era amasomero 25 kw’ago 38 agaali gaakeewandiisa ku mutendera gwa siniya ge geetaba mu kulonda nga 21/04/2024 ate amatendekero 32 ku 49 ge geetaba mu kulonda nga 20/04/2024.

Ssentebe ateekateeka okuwaayo obuyinza Mw. Kakeeto Hannington Sseremba, yeebazizza Beene olw’okubawa omwaganya okuweereza eggwanga lyabwe era n’awera okusigala nga atwala obuwereza mu maaso.

Olukiiko olulangiriddwa okutwala amatendekero agawuggulu, Adrian Abraham Lubyayi okuva ku Makerere University ye Ssentebe, wakumyukibwa Kintu Tony okuva ku Ssetendekero wa Nkumba, Lukwago Julius okuva Kyambogo University ye mukubiriza w’Olukiiko n’abakulembeze abalala.

Ku mutendera gwa Akaliba Akendo, Nansubuga Shaluah okuva Ebenezer Christian High School ye Ssentebe ng’amyukibwa Nassimbwa Trisha okuva ku Mengo S.S ate  Nsubuga Arafat Ggayira okuva ku Janan S.S Bombo nawangula ekya Sipiika kuno kwogatta abakulembeze abalala.

Olukiiko luno olulangiriddwa lwakulayizibwa  nga 11/05/2024 ng’era obukulembeze bugattiddwako n’obukiiko obulala obw’enjawulo okwongera okuyambako mu kuggusa emirimu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.