Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka, emizannyo n’Ebitone,Owek. Robert Sserwanga afulumizza enteekateeka ya Minisitule eno naddala ekwata ku byemizannyo nalaga emiramwa emikulu gyebagenda okutambulirako omwaka guno.
Bino bibadde mu mu nsisinkano gyabaddemu n’abatwala eby’emizannyo mu Bwakabaka, abaami ba Kabaka, abakulembeze b’Abavubuka mu Masaza ne bannabyamizannyo mu Bulange e Mmengo ku Mmande.
Owek. Sserwanga era asinzidde wano naasaba abavubuka okwettanira ebyemizannyo bakulaakulane era bakyuuse obulamu bwabwe n’okuzza Buganda ku ntikko.
Minisita Sserwanga era asabye bannamikago okukolera awamu n’Obwakabaka okutumbula embeera z’abavubuka nga beesigama ku nteekateeka eno.
Owek Sserwanga kati ayagala buli muvubuka yenna mu Buganda abeeko kyakola nga agoberera ennambika y’omwaka eyabavubuka asobole okusitula embeera ze.
Bino webijjidde ng’empaka z’emizannyo ku mutendera gw’ Eggombolola zitandika 27 omwezi guno.
Ensisinkano ebadde ku Bulange nga yeetabiddwamu, Ssentebe w’empaka z’Amasaza Hajji Sulaiman Ssejjengo, Oweek Hajji Katambala Sulaiman Magala akulira empaka z’Ebika, abakiise b’abavubuka mu lukiiko lwa Buganda, n’abalala.