
Bya Ssemakula John
Ssanga – Kyaddondo
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Okwewummuzaamu mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu akubiriza abaana bulijjo okufaayo ennyo okulabirira bakadde babwe nga bakuze mu myaka oba nga bafunye obukosefu kyongere okubaggulirawo emikisa .
Owek. Ssekabembe bino abyogeredde Ssanga Kigumira mu Kyaddondo mu kulambula Abataka b’Ekika kye Kibe, Muyige Sulaiman Kinaalwa II okulaba embeera gyebalimu n’okubasaasira.
Owek. Ssekabembe ayaniriziddwa Omumyuka Asooka owa katikkiro w’Ekika kino, Akaziro Sulaiman Kibirango era neyebaza abenju ya Muyige nabazukulu mu kika kino olw’okujjanjaba omutaka obulungi ekimusobozeseza nemu bugonvu bwalimu okusigala nga atuukiriza emirimu gya Nnamulondo.
Minisita asinzidde wano nakubiriza abantu okufaayo okulabirira abantu babwe abakuze mu myaka nebwebaba balwadde so si kubeggyako nga batuuse mu mbeera enzibu .
Omutaka Sulaiman Kinaalwa yeebaziza Obwakabaka olw’okufaayo okulondoola abaweereza babwo era aweze nti baakusigala nga bawulize eri Nnamulondo.
Minisita Ssekabembe bwavudde eno ayolekedde Matugga mu maka g’Omutaka Namuguzi Ssebuganda Ndawula Wilson omukulu w’Ekika ky’Empologoma naye okumusaasira obumuluma .
Omuwandiisi w’Ekika ky’Empologoma Mwenge Isaac Michael yeebaziza Beene olwokufaayo okulondoola abaweereza be kyagambye nti kyongera okubawa essuubi ate nokunnyikiza Obumu.









