Bya Posiano Mukiibi
Buvuma
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka bwa Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu, avumiridde eryanyi erisusse abakuumaddembe lye bakozesa ku bannansi ly’agamba nti lyandisuula eggwanga mu katyabaga.
“Ekiseera kituuse tusooke tukkakkaneko, abalima amaanyi n’obuyinza mu bikozese bulungi naddala abakuumaddembe. Bwe munaabikozesa obubi, abaana baffe bano abato abalaba ebintu ebyo, bajja kulowooza nti ensi bw’etyo bw’etambula nga kifuuse ku buyaaye n’obubbi,” Minisita Ssekabembe bwe yagambye.
Bino, Minisita Ssekabembe yabyogeredde ku ssaza e Buvuma ng’ayanjula enteekateeka nnamutayiika ey’abavubuka mu kaweefube gw’aliko ow’okubabangula ku ngeri gye basobola okusitula embeera zaabwe mu masaza ag’enjawulo.
Ku biriwo mu ggwanga, Ssekabembe yalabudde ku ffujjo, okulwanagana, okweweebuula n’ebikolwa by’abakuumaddembe nti, bino byoleka akaseera akazibu eggwanga lyekolekedde.
Minisita yasabye abavubuka abali mu bukulembeze okuzimba bannaabwe, basobole nabo okukulembera abalala era bakomye okutya kukola n’abantu, nga batya okubayitako, kubanga buli omu yaweebwa ekitone kya njawulo, wadde nga byonna bisobola okubagasiza awamu.
Yennyamidde olw’ebyobulamu, ebyenjigiriza, n’obwavu obususse mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo, n’alaga nti weetaaga okubaawo ekikolebwa mu bwangu.
Minisita Ssekabembe, abavubuka yabakuutidde okufuna okwolesebwa era beetegekere olutalo lw’okulowooza nga beefumiitiriza ku gye bavudde ne we bali awamu ne gye baagala okutuuka.
Omukwanaganya w’abavubuka mu Buganda, Joseph Balikuddembe, yabangudde abavubuka ku ngeri gye basobola okukolamu ebibiina by’obwegassi ne batereka n’ekitono kye balina, naye ne kibayamba okukola ebinene n’okwekulaakulanya.
Ono yababuuliridde nti essaza Buvuma lirina buli kimu kye beetaaga okugaggawala singa bakozesa obwongo ne bakomya okwekubagiza.
Omwami wa Kabaka akulembera Buvuma, Mbuubi Ssaalongo Lawrence Kayiza, yeebazizza Omutanda olw’enteekateeka eno era n’asuubiza okukunga abavubuka okugijjumbira.