
Bya Maria Nassolo
Bulange – Mengo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu bonna mu Buganda okunyweza ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yabadde ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 68 nabasaba okubeera obumu, Buganda esobola okudda ku ntikko.
Okwogera bino Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abadde ku mukolo Owek. Kaddu Kiberu gweyatese okusiibulula abasiraamu e Muyenga mu Ggombolola y’e Makindye ku Lwokutaano.
“Nneebaza nnyo Owek. Kaddu okuwuliriza ekiragiro kya Ssaabasajja eky’okubeera obumu n’okussa mu nkola ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano,era nsaba buli omu amuyigireko”. Owek.Robert Waggwa Nsibirwa bw’ategeezezza.
Mungeri yeemu Owek. Robert Nsibirwa yeebazizza nnyo Owek. Kaddu Kiberu olw’omutima omugabi n’omulimu Amakula gwakola wakati mu butasosola bantu ba Ssaabasajja mu mbeera yonna era nga obumu bwalaga ly’ekkubo Obuganda lyebulina okukwata okusobola okutuuka ku ntikko.

Owek. Kaddu Kiberu Ssentebe w’akakiiko akali ku ddimu ly’okuzzaawo Amasiro g’Obwakabaka ategezezza nti omulimu gw’okusiibulula abasiraamu, gwandibadde gukolebwa abasiraamu bonna abeesobola okutuukiriza empagi ya Allah eno naddala mu nnaku zino ezisigaddeyo tutuuke ku Eid.
Ono abasabye okutwala empisa ennungi zebabadde bakola mukisiibo mu maaso era bazaagazise n’abalala.

Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge eby’enjawulo mu Bwakabaka okuli Ssaabawolereza wa Buganda Owek.Christopher Bwanika, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa, Minisita w’amawulire mu Buganda Owek.Noah Kiyimba, Owek. Apolo Makubuya, Omuk. Henry Katamba, Omuk. Freeman Kiyimba, Omuk. Michael Kawooya Mwebe n’abamu ku baweereza okuva ku CBS.









