Bya Ssemakula John
Mityana- Ssingo
Omumyuka wa Katikkiro owookubiri, Owek.Robert Waggwa Nsibirwa asabye bannaddiini okutandikawo emirimu egyenjawulo mwe basobola okuggya ensimbi mu kiseera nga bawummudde emirimu gy’okusumba abantu ba Katonda.
Bino owek. Nsibirwa abyogeredde Bulemeezi ku mukolo gw’okusonda ensimbi okuzimba Ssemaduuka w’Obulabirizi bw’e Luweero ku Lwomukaaga.
Owek.Nsibirwa agamba nti ebiseera ebisinga bannaddiini bwe bava mu buweereza, basanga okusoomoozebwa okwebeezaawo olwokuba ebiseera byabwe ebisinga babimala basumba bantu ne batategekera biseera byabwe bya mu maaso.
Omukolo guno gwatandise n’okusaba okwakulembeddwamu Omulabirizi w’Obulabirizi buno, Eldard Nsubuga asabye bannaddiini bonna n’abantu ba Katonda okubwakwasizaako ku mulimu guno gusobole okuvaamu ebibala.
Omulabirizi Eldard Nsubuga agambye nti yavaayo n’ekirowoozo ky’okuzimba Ssemaduuka ono okusobola okuwagira abaweereza ba Mukama abeetaaga okukwatizaako mu kiseera nga bawummudde kuba abamu embeera yaabwe okweyimirizaawo ebeera nzibu ddala.
Kinajjukirwa nti Omulabirizi Nsubuga ye yatandika enteekateeka eno, era ekizimbe kino kyali kyatandikibwako kyokka ekiseera kyatuuka ensimbi ne ziggwaawo ne kiyimirira, ekyawaliriza okutegeka omukolo guno
Obukadde obusobye mu 25 bwe busondeddwa ku mukolo guno nga Owek.Robert Waggwa Nsibirwa awaddeyo obusawo bwa sseminti 120 buyambeko ku mulimu guno.