
Bya Ssemakula John
Kawempe – Kyaddondo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abazzukulu okuwagira enteekateeka z’ebika ez’enjawulo era babyagale kibayambe okubinyweza n’okuzza Obuganda ku ntikko.
Bino Owek. Nsibirwa abyogeredde ku butaka bw’ Ekika ky’ Envuma e Kawempe mu Kyaddondo ku Lwokutaano bw’abadde alambula emirimu egikolebwayo n’okuyambako okutema empenda ku nteekateeka ez’enjawulo ezisobola okukikulaakulanya. Ku bugenyi buno, Owek. Waggwa ayaniriziddwa Katikkiro w’ Ekika kino Felisto Lwanga awamu n’olukiiko lwe.
“Nasemba okubeera wano wano mu Nkuuka nga Jjajjaffe Mbugeramula azze okutugabula nga tuzze okulamga naye kyensanze wano kinsanyuzizza nnyo nga omuzzukulu. Ettaka ly’obutaka yiika 5 wano e Kawempe lyateekebwako bbugwe ow’omulembe tewali asobola kulisalimbirako. Eky’okubiri ndabye ku kyapa era nga kiri mu mannya g’ Abayima b’Ekika okulitaasa ku bannakigwanyizi,” Owek. Nsibirwa bw’agambye.

Owek. Waggwa era yeebazizza ku nteekateeka Nnamutayiika ekika gyekirina okulaba nti Obutaka buno bukulaakulanyizibwa mu ngeri eggyayo obulungi Ennono n’Obuwangwa kisobozese okukuuma ettaka lino eriri mu kibuga.
Owek. era awadde ba jjajja abataka amagezi okusembeza abazukulu babagaze ebika byabwe bisobole okunnywera.
Okusinziira ku Owek. Waggwa kimukwatako ng’omuzzukulu okulaba era n’okumanya emirimu egikolebwa ku butaka bwabwe kuba abadde aludde okulambula ku mbuga eno olwa Ssenyiga Corona eyateeka ensi ku muggalo.
Yeebazizza Abazzukulu n’abantu bonna ababadde bawagira enteekateeka z’Ekika era nabasamba Decemba ono nga 10 bajje bamanyagane mu Nkuuka y’ekika ky’Envuma.
Ye Katikkiro w’EKika ky’Envuma Felisto Lwanga Sseruwagi yeebaziza Owek. Nsibirwa olwokuba olwokuwagira ekika kye era nakunga bazukulu ba Kyadondo qbalala okumulabirako nga bennyigira mu nsonga zekika eziteerebwawo.









