• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Nsibirwa asabye abantu okwenyigira mu nteekateeka z’Obwegassi bakulaakulane

Gambuuze by Gambuuze
November 28, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek. Nsibirwa asabye abantu okwenyigira mu nteekateeka z’Obwegassi bakulaakulane
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu ba Buganda okwenyigira mu bwegassi kibayambe okunyweza obumu n’okugaziya ennyingiza yabwe nga bayita mu bibiina nga CBS PEWOSA.

Obubaka buno Owek. Waggwa abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 56 okuva mu Bannamawokota ababadde bakulembeddwamu Kayima Gabriel Kabonge.

Owek. Nsibirwa agamba nti enteekateeka y’okwewola nga basinziirira mu bibiina  byabwe nnungi ddala kubanga eyamba okugatta ku muwendo mu byenfuna ate n’okukulaakulana kw’abantu.

Mu ngeri yeemu abakubirizza abazadde okuyigiriza abaana eby’emikono mu kiseera kino eky’oluwummula baleme kutayaaya, era essira basinge kulissa ku baana abalenzi kubanga bafuuse ba kyejo nnyo ensangi zino.

Kulwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek Israel Kazibwe Kitooke Minisita, w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, asibiridde banna Mawokota entanda ya nsonga nnya kwebaba beesigama okusobola okugenda mu maaso, okuli, obuyiiya, obunyiikivu, okukola obutaweera, n’obwerufu.

Omwami wa Kabaka  amulamulirako essaza Mawokota Kayima Gabriel Kabonge yebaziza Obwakabaka olwenteekateeka ezenkulaakulana zebassa bantu era ezikyusiza embeera zaabwe.

Abaami b’egombolola ezikiise bawaddeyo alipoota eri Katikkiro eziraga byebatuuseeko ne byebateeseteese okukola.

Abakiise embuga mubaddemu Abatongole ba Ssaabasajja Abaami b’Emiruka, abaweereza ku mitendera egyenjawulo , nabaana bamasomero okubadde Assurance  primary School, St Juliana primary School, aba Former Footballers Initiative (Abaagusambako)  n’abalala.

Mu ggombolola ezikiise embuga kuliko; Mumyuka Kamengo, Ssaabwaali Nkozi, Musaale Buwama,  Musaale Busukuma, Musaale Buwama, Ssaabaddu Kituntu,Nazigo Mutuba II  nga bano bonna baleese oluwalo lwa bukadde 56.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist