
Bya Shafic Miiro ne Francis Ndugwa
Lubiri – Mmengo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu okwekwata Tekinologiya mu bintu ebyenjawulo byebakola bwebaba baagala okugenda mu maaso bakulaakulane.
Okusaba kuno Owek. Waggwa akukoledde ku ssomero lya Lubiri High School e Mmengo bw’abadde aggulawo ekizimbe omuteereddwa Kompyuta 100 kiramba okwongera okubangula abaana ku Lwokutaano.
Owek. Nsibirwa agamba ebintu webituuse tekikyaliko kuba nti oli yasoma oba nedda naye abeera alina okweyambisa omutimbagano bwatyo naakubiriza abantu bonna okwenyigiramu.

“Mu nteekateeka ya Gavumenti empya yakyuusa engeri y’ensoma y’abaana naddala ku Siniya ezitandikirwako, Kaakati okusoma tekuli nti musomesa yakuvuga naye gavumenti eyagala abaana nga bebatandika olwo omusomesa naba byebakoze nabawa okulambika. Bw’oba onaakola bwotyo weetaaga ebyuma bikalimagezi omwana gyasobola okugenda nakebera ku mutimbagano byayagala okukolako,” Owek. Nsibirwa bw’ategeezezza.
Owek. Nsibirwa abantu abasabye okukozesa obulungi omutimbagano bayige era bagatte ku bulamu bwabwe mu kifo ky’okusiiwuka empisa nga bavumirako abantu.
Ono yeebazizza Ssentebe wa Bboodi y’essomero lya Lubiri High School Mmengo Omw. John Fred Kazibwe n’olukiiko lwe olw’okuzimba ekizimbe kino kyebataddemu kompyuta eziwera kikumi kiramba abayizi zebagenda okweyambisa mu nsoma eno empya.
Abayizi abasabye okukozesa omukisa guno kubanga kizibu nnyo kati okwewala Tekinologiya mu buli kimu singa oli abeera ayagala okugenda mu maaso.
Minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Cotilda Nakate yeebazizza abakulira essomero lino olw’okukola omulimu guno awatali kwewola nsimbi era asabye abayizi ebyuma okubikwata obulungi bisobole okubagasa.
Ye Ssentebe wa Bboodi y’essomero lino, John Fred Kazibwe alambuludde nti kino bakikoze beeyambisa ensimbi ezikungaanyizibwa okuva mu bayizi era basuubira abayizi okwongera okubanguka.
Akulira essomero lya Lubiri High School Omuk. Immaculate Nampijja annyonnyodde nti baagala okulaba nga abaana babanguka mu byuma bino kibanguyize okwanguyirwa ensi n’okufuna amangu emirimu.









