• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Nsibirwa asabye Ab’Amasaza okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu bantu be bakulembera

Gambuuze by Gambuuze
July 24, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek. Nsibirwa asabye Ab’Amasaza okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu bantu be bakulembera
0
SHARES
28
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Ndeeba – Kyaddondo

Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye Abaami b’Amasaza okwongera okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu bantu be bakulembera kibayambe okwongera okulaakulana ne Buganda esobole okudda ku ntikko.

Okusaba kuno Owek. Nsibirwa akukoledde ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba bw’abadde aggalawo Olusirika lw’Abaami b’Amasaza ku Lwokusatu wansi w’omulamwa gw’okwolesa Federo y’Ebikolwa  mu masaza ga Buganda.

Owek. Waggwa Nsibirwa Abaami bano abasabye  okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga boolesa Federo y’ebikolwa okusobola okusalira ebizibu by’abantu be bakulembera amagezi kibayambe okutumbula embeera zaabwe.

Minisita Nsibirwa  agumizza Abaami bano nti enteekateeka z’Obwakabaka nnyingi nga zonna zitunuulidde enkulaakulana mu bantu ba Kabaka nga bwekityo balina okuzaagazisa abantu.

Ono anokoddeyo enteekateeka ez’enjawulo omuli ez’okuzimba  ebisaawe by’omupiira mu masaza ag’enjawulo kiyambe okwongera okutumbula ebitone kuba kizuuse nti empaka z’Amasaza ga Buganda zikuze ebitagambika.

Bw’abadde mu Lusirika luno, Omukubiriza w’Olukiiko lw’ Abataka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba abanjulidde obutabo buna obwakoleddwa Abataka abakulu ab’obusolya nga bulimu ennambika empya egenda okugobererwanga mu kwabya olumbe era anaasesetuka naava ku nnambika eno ajja kuba akola bibye ng’omuntu.

Omutaka Namwama ategeezezza nti mu nkola eno mpaawo kuddamu kwabya lumbe n’okulaga omusika amangu ddala nga okuziika kuwedde okuggyako nga wayiseewo emyezi mwenda n’enkola endala nga bwalambulula.

Abaami Bamasaza abeetabye mu ttabamiruka ono baweze okuddayo okuteeka Federo ey’ebikolwa mu nkola basobole okukulaakulanya abantu baabwe ne Buganda.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Abaami b’amasaza ag’enjawulo, Abamyuka baabwe, ne ba Nnampala baabwe era bafunye okubangulwa okuva mu bakugu ab’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist