Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Abaami ab’Amasaza n’abamyuka baabwe wamu ne ba Ssentebe ba ttiimu z’Amasaza ne bamaneja bakiise Embuga olwaleero okwongera okulambikibwa ku ntambuza y’Empaka z’Amasaza era basisinkanye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Minisita w’Ebyemizannyo ne Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda.
Mu nsisinkano eno Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa asiimye enkulaakulana ez’enjawulo ezigenda mu maaso mu mpaka z’Omupiira gw’Amasaza era yeebaziza bonna balina kye bakola okulaba ng’Empaka zino zongera okubeera ez’amaanyi okuli olukiiko oluteekateeka Empaka, abakulembeze ba ttiimu, basambi, abawagizi n’abavujjirizi.
Oweek. Nsibirwa agamba nti newankubadde wakyaliwo ebisoomooza eby’enjawulo naye waliwo okugenda mu maaso mu mpaka zino naddala mu kiseera kino nga Amasaza ag’enjawulo gakwataganye n’eddimu ery’okuzimba ebisaawe by’agambye nti bigenda kwongera ekirungo mu bibala by’empaka zino.
Owek. Waggwa ategeezezza nti emiganyulo mingi egiri mu mpaka zino okuli; okutumbula ebitone, okutondawo emirimu, okunyweza obumu mu bantu, okunyumirwa n’okukola ensimbi. Ku birala bino n’ebirala kw’asinzidde n’akubiriza buli eyeetaba mu mpaka zino okufaayo okukuuma ekifaananyi kyazo zongere okutinta.
Omuwanika wa Buganda era asinzidde wano n’ategeeza nti Obwakabaka bulina enteekateeka ey’amanyi okulaba nga ebisoomooza eby’enjawulo bikolebwako, ate n’okukwatirako Amasaza gonna naddala mu nteekateeka ey’okuzimba ebisaawe okulaba ng’Empaka zongera okukula.
Ye Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda, Owek. Robert Serwanga asinzidde mu nsisinkano eno n’ategeeza nti empaka z’omwaka guno zibadde zikyatambudde bulungi naddala mu kuvuganya, nga ne ttiimu ezaali ziyitibwa enafu ku luno zisitudde omutindo omulungi.
Owek. Sserwanga agamba nti wadde waliwo obulumira obweyolekeddemu ng’okulwana ku bisaawe, okwemulugunya ku nnamula yaba ddiifiri n’ebirala era agamba nti bino babikwasiza maanyi okulaba nga bikomezebwa.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki mu kwogera kwe yeebazizza omutindo ogwoleseddwa ttiimu ez’enjawulo mu mwaka guno era agamba nti mu mpaka temukyaali ttiimu ntono.
Ono era agasseeko eddoboozi okwebaza Amasaza agali mu kuzimba ebisaawe n’asaba n’agatanatandika okusitukiramu baleme kusigala mabega.
Bano era basuubiza okwongera okukuuma ekifaananyi ky’Empaka n’Ekitiibwa kya Nnamulondo.
Ensisinkano eno ejjidde mu kiseera ng’Empaka zisigaddeko omupiira gumu okumalako omutendera ogw’ebibinja era nga ttiimu nga Kabula, Busujju, Ssingo ne Buddu zaayiseewo dda okwesoga omutendera ogukulembera oguddirira ogw’akamalirizo.