• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Nsibirwa akuutidde abayizi okunywerera ku misomo gyabwe

Gambuuze by Gambuuze
November 2, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek. Nsibirwa akuutidde abayizi okunywerera ku misomo gyabwe
0
SHARES
52
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa alabudde abayizi  okwewala ebintu ebiyinza okubaggya ku misomo gyabwe wabula banyweze ekalamu okutangaaza ebiseera byabwe eby’omu maaso.

Owek. Nsibirwa abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu masomero ga Janan Schools.

Nsibirwa  alaze abayizi obukulu bw’okusoma era naasaba naddala abaaana ab’obuwala okwewala ebiyinza okubaviirako okuwanduka mu ssomero basobole okumalako emisomo.

Ono abakuutidde okunyweza empisa  era bakulembeze Katonda mu buli kimu okusobola okuwangula ensi.

Ate Minisita w’Amawulire, okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe  bw’abadde atikkula Oluwalo kulwa Katikkiro okuva mu masomero amalala n’eggombolola ez’enjawulo asabye  abazadde okulekerawo abayizi  akadde ak’okuwummula basobole obuteetamwa kusoma.

Owek Kazibwe ategeezezza abantu ba Ssaabasajja Kabaka nti amaanyi ga Uganda be bakulembeze ab’ensikirano. Abasabye okugoberera ensonga Ssemasonga ettano.

Bano abasuubizza nti Obwakabaka bwakusigala nga bukolagana n’ebitundu ebirala okuleetawo enkulaakulana.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki akubirizza abavubuka okwongera okuwagira n’okugoberera enteekateeka z’Obwakabaka  basobole okulaakulana.

Omutandisi w’amasomero ga Janan Omuk. Mike Kironde yeebazizza Obwakabaka olw’ enteekateeka zebusaawo ezikyusa embeera zabantu nga ziyita mu byenjigiriza , ebyobulamu nebirala era nategeeza nti okuleeta abayizi embuga balubiridde okubannyikizaamu empisa , n’ ennono zaabwe bakule nga  bazimanyi.

Kubabaddewo ku lwa babaka ba Palamenti kubaddeko Hon. Sserukenya David, Makindye Ssaabagabo awamu ne Hon Nakuth Faith ( Woman MP Napak District) ono nga ajjukizza Obwakabaka nga webulina akakwate ku Karamoja nga kava ku Ssekabaka Muteesa II eyawaayo omusaala gwe ogwasooka mu woofiisi okuzimba amalwaliro e Karamoja.

Eggombolola ezikiise embuga zivudde mu masaza ag’enjawulo okuli Ssingo, Buddu, Kyaddondo, ate eggombolola okuli; Mumyuka Bugaya, Ssaabaddu Busamuzi, Ssaabagabo Nairambi, Ssaabawaali Bweema ne Musaale Ssejja ze zivudde e Buvuma.

Amasomero agakiise embuga kubaddeko  elya Janan Schools nga gano gakulirwa Omuk. Mike Kironde , Kajjansi  Progressive SS,  Kyadondo Technical Institute n’amalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.