Bya Ssemakula John
Ssingo
Minisita w’enkulaakulana y’abantu, Owek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma asabye abantu ba Kabaka okunyweza ekigambo ky’obuyonjo basobole okwewala okusaaasaanyiza ssente mu malwaliro era basigale nga balamu.
Owek. Nankindu okusaba kuno akukoze alambula emirimu egikolebwa abakyala mu ssaza Ssingo wamu n’amaka amagunjufu mu nteekateeka y’Akaalo Amatendo egendereddwamu okufuna amaka agateekeddwatekeddwa obulungi, amagunjufu era amayonjo.
“Obuyonjo tekitegeeza kubeera na nnyumba oba amaka amatiribona. Naye ndabye obuyonjo era njagala okwebaza abaakaalo amatendo nti tugendere awo n’omutindo. Lwaki nzikaatiriza obuyonjo kuba ne bw’atandika okunaaba mu ngalo nga COVID-19 azze, endwadde zaakendeera.” Minisita Nankindu bw’agambye.
Okusinziira ku Minisita Nankindu, endwadde ezituluma ebitundu 75 ku buli 100 ziva ku bucaafu nga singa banaatumbula obuyonjo obulamu bwabwe bujja kukyukamu.
Owek. Nankindu asabye abantu okuwang’ana amagezi kibasobozese okugenda ku ddaala eddala nga Beene bw’atukubiriza era kino bakikole awatali kwesosola mu byabufuzi, mawanga n’eddiini.
Ono annyonnyodde nti enteekateeka zino ze ziyamba Obwakabaka okukwatagana n’abantu mu masaza ag’enjawulo okusobola okwekenneenya embeera bw’eri nga bamanya ekituufu era ky’ekimu ku bigenda okuzza Buganda ku ntikko.
Owek. Nankindu akubirizza abantu okwegemesa ekirwadde kya Ssennyiga Corona era bafube okujjumbira enteekateeka za Buganda ng’okugaba omusaayi, emisinde, n’ebirala okusobola okutwala Obwakabaka mu maaso.
Omwami w’essaza Ssingo, David Nantaggya, ategeezezza nti waliwo ebintu ebirabiddwako olwaleero ebiraga nti amaka mu kitundu kino galimu obugunjufu era abeetegefu okutwala Buganda ku ntikko.
Mu balambuddwa mu nteekateeka eno kuliko, Mukyala Aidah Nabulime, Omwami n’omukyala Luweesi Peter ab’oku kyalo Katooke, Mukyala Lilian Namisango Ssewanyana, Mukyala Bukirwa Sarah, Mukyala Teddy Nabuyondo, n’abalala.