Bya Ssemakula John
Kampala
Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda asabye abazadde mu ggwanga okufaayo ennyo ku nkuza y’abaana baabwe, kisobole okukendeeza ku bikolwa ebyekko n’emize emibi egiri mu ggwanga.
Obubaka buno bubaweereddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule bw’abadde atikkula bannamawokota omubadde n’ababaka ba Palamenti, Oluwalo olwobukadde obusoba mu 11.
“Njagala okubasaba mukuume ekitiibwa kyammwe abasajja n’abakazi abaganda. Ebintu bingi ebiri mu Buganda era tulaba ng’empisa zisiiwuuse naye nga kino kiva mu kulera n’okukuza abantu baffe nga so ba mpisa.” Mugumbule bw’ategeezezza.
Ono abasabye okukola ennyo bakulaakulanye Obuganda awamu n’okukuuma obutonde nga wano Federo abaganda gye bayaayaanira w’ejja okubasangira kuba waliwo ebirina okusooka okukolebwa.
Owek. Mugumbule annyonnyodde obukulu bw’okukiika Embuga era n’alaga nti enkola y’Oluwalo gye gimu ku misingi okusibuka omwoyo gw’obwegassi, bumu, obugunjufu n’ebintu ebirala.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye ababaka ba Palamenti mu Buganda okweyambisa ebifo ebyabakwasibwa abantu okulwanirira ensonga z’Obwakabaka .
Ye omwami wa Kabaka atwala essaza lya Mawokota, Kayima Gabriel Kabonge agambye nti nti baakwongera okukumaakuma abantu ba Ssaabasajja okwenyigira mu buli nteekateeka z’Obwakabaka okulaba ng’Obwakabaka butuuka ku ntikko.
Bannamawokota bawerekeddwako abakulembeze mu gavumenti eyaawakati okubadde omubaka Hillary Kiyaga (Hilderman), Teddy Nambooze n’abalala.
Mu ngeri yeemu abantu ba Kabaka okuva mu ggombolola ya Mutuba 2 Nazigo mu ssaza ly’e Bugerere bakiise Embuga n’Amakula era gano gabatikkuddwa Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Mosese Luutu mu Lubiri e Mmengo.
Ono asinzidde wano n’asaba abaami ba Kabaka okwewala okutabiikiriza ebyobufuzi mu buweereza nga lwe bajja okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa.
Bano baloopye Embuga ebibasoomooza mu bitundu byabwe ng’ebyobufuzi ebiyitiridde kyokka ne bawera okulwana okubigonjoola okukomya okuleetawo enjawukana .
Amakula agaleeteddwa mubaddemu; emmere, ebibal, ebisolo n’ebintu ebirala.