• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Owek. Mugumbule asabye abazadde okufaayo ku nkuza y’abaana

Gambuuze by Gambuuze
March 13, 2024
in Amawulire
0 0
0
Owek. Mugumbule asabye abazadde okufaayo ku nkuza y’abaana
0
SHARES
28
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Namirembe – Kyaddondo

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule akuutidde abazadde naddala abakyala okufaayo ku nkuza y’abaana.

Sipiika Mugumbule okwogera bino abadde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’ Abakyala abafumbo mu kkanisa ya Uganda abeegattira mu kibiina ki Mothers’ Union bwebabadde bajaguza olunaku lwa maama Maria mu maka ga Ssaabalabirizi Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ku Lwokusatu.

 Owek. Mugumbule  agamba nti abakyala bebasinga okuwangaala n’abaana  nga bwekityo bavunaanyizibwa ku mpisa zabwe bwatyo naasaba wabeewo okuwuliziganya ku njuyi z’abazadde n’abaana.

Mugumbule annyonnyodde  ng’ekibiina kino bwekiri eky’enkizo ennyo okwawukanako nebirala kubanga bano balina omwaganya okukula mu mwoyo ne mumbeera zaabwe ez’obulamu naabozaayoza okutuuka ku lunaku luno.

Ye Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu, akunze abakyala bano okwekumira mu kusaba n’okwesiga katonda kubasobozesse okuvunuka ebibasomooza mu maka n’ eggwanga lyonna.

Dr. Kazimba  era asabidde abakyala n’abaana munsi yonna abayita mukusomoozebwa okwenjawulo okuvunuka ebibasomooza era nasaba buli muntu okuvunyizibwa mukukomya obutabanguko mu maka.

Ono  era asinzidde ku mukolo guno natongoza akatabo aka Family Prayer Guide akawomeddwamu omutwe obukulembeza bwe kibiina kino.

Ku mukolo guno era basonze  ssente ezigenda okuzimba ekizimbe ky’ekibiina ky’abakyala kino nga awaddeyo obukadde bw’ensimbi bubiri, ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 12 zeezeyamiddwa.

Omukolo guno gwetabiddwqako abakyala okuva mu bulabirizi obwenjawulo okwetoloola eggwanga lyonna beetabye ku mukolo guno nga bambadde bussuti enjeru nebitambala ebya bululu ng’enkola yabwe bweri.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist