
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye abazadde wamu nabasomesa okwongera amaanyi mu kubangula nokubateekateeka obulungi kuba ly’ eggwanga ery’enkya.
Okwogera bino, Sipiika Mugumbule abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 18 n’omusobyo okuva mu masomero ag’enjawulo okuva mu Busiro agakiise embuga ku Lwokubiri.
Wano Owek. Mugumbule wasinzidde naasaba abazadde okwongera okukwasisa empisa mu baana basobole okufuuka abantu ab’omugaso gyebujja.
Ye Omwami w’Eggombolola ya Ssaabagabo Nsangi Wasswa Mathias Kutanwa ateembese amasomero gano agamba nti kino bakikola okwongera okunyweza Buganda eyongere okubukala naddala mu miti emito kubanga ly’ eggwanga ery’enkya.
Ye Mmeeya wa Kyengera Ttawuni Kkanso, Mathias Walukagga akubye abayizi akaama okwagala ennyo eggwanga lyabwe kwosa n’okunywerera ku misomo gyabwe beewale eby’okubaggya ku mulamwa nga lwebanaaba nebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Bbo abayizi abaleese Oluwalo bategeezezza nga bwebali abasanyufu kuba nabo basobodde okufuna ku mukisa ogutuuka embuga nebalaba ebibeerayo.
Amasomero agakiise embuga kubaddeko Nanziga SDA Primary School, Ssetendekero International Paramedical Institute Maya , Nanziga SDA Primary School, Muvule Primary School , Buddo Junior School , Trinity College Nabbingo , Kings College Buddo namalala mangi .








