
Bya Stephen Kulubasi
Lubiri – Mmengo
Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye abantu ba Kabaka okunyweza obulimi okusobola okulwanyisa ebbula ly’emirimu era beekulaakulanye.
Okwogera bino Owek. Mugumbule abadde atikkula Amakula ga Ssaabasajja Kabaka okuva mu ggombolola ya Ssaabaddu Kapeeka mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu
Owek. Mugumbule ategeezezza nti singa bano babeera bannyikidde mu bulimi basobola okufuna emmere ebamala ate bafunemu nakasente akasobola okubayamba.
Mungeri yeemu abasibiridde entanda y’okusosoowaza eby’obulamu nga Beene bwazze akubiriza Obuganda basobole okubeera abalamu obulungi basobole okuzza Buganda ku ntikko.

Owek. Mugumbule asinzidde wano neyebaza abalyannaka olw’obujjumbize eri emirimu gya Kabaka n’okusosoowaza obwasseruganda kagambye nti kano kabonero akenkukunala akalaga nti Buganda yakudda ku ntikko awatali kulonzalonza olw’obumu.
Sipiika Luwaga yeebazizza abantu bano abakulembeddwamu omwami w’eggombolola eno Kikomeko Daniel, olw’okutuukiriza akalombolombo k’okutwalira Kabaka Amakula.
Ye Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Omuk. Luutu Moses asabye Pulezidenti Museveni okuddamu okulowooza ku bantu b’eLuweero wamu n’okulwanyisa ettemu ly’emmundu erikyase ennyo ensangi zino.
Omwami w’eggombolola Ssaabaddu Kapeeka, Kikomeko Daniel ategeezezza nti bakola butaweera okukulaakulanya eggombolola yabwe nga bayita mu nteekateeka ez’enjawulo.









