
Bya Shafic Miiro
Kisubi – Busiro
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule akubirizza abantu ba Buganda okusoosowaza Ebyobulamu n’Ebyenjigiriza mu baana okuzimba ebiseera by’Eggwanga eby’omumaaso obulungi.
Oweek. Mugumbule okwogera bino abadde ku bijaguzo eby’emyaka 25 eby’essomero lya Kisubi Mapeera Secondary School e Kisubi.
Yeebazizza nnyo abatandisi n’abakulembeze b’essomero lino olw’enkulaakulana gye batadde mu kifo kino ate n’omulimu gwe bakola okubangula abaana b’Eggwanga.

Atenderezza Omukulu w’Essomero lino Owek. Joseph Ddamulira olw’obunyiikivu n’obuyiiya bw’akozeseza okukulaakulanya essomero lino, ng’ono emyaka gy’amaze mu kifo kino egisoba mu 20 ebibala bingi ebirabwako ebituukiddwako mu kifo kino.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko naye yebazizza omukulu w’essomero lino, abazadde n’abasomesa bonna abaliko kye bakoze mu lugendo luno olw’emyaka 25, era abasabye okwongera okufuba okugattako omutindo ku lw’ebiseera by’omumaaso ebirungi mu kisaawe ky’ebyenjigiriza.

Ku mukolo guno, wabaddewo emmisa ekulembeddwamu Rev. Fr. Gerald Kalumba ng’ono akulembeddemu okusabira abayizi abagenda okutuula siniya ey’okuna n’eyomukaaga, era nga n’abaana 36 basiddwako emikono.
Ono naye yeebazizza abatandisi b’essomero lino olw’okwolesebwa okuvuddemu ebibala ebingi ddala nga ekisinga obukulu kwe kubangula abaana b’Eggwanga.
Omwami w’Essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, Omumyuka n’Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo beetabye ku mukolo guno, bannaddiini, abakulembeze mu Gavumenti eyawakati n’abazadde ku ssomero lino.









