Bya Ssemakula John
Kamapala
Akulira oludda oluvuganya mu Palameniti, Owek. Mathias Mpuuga yategeezezza nga gavumenti gy’akulembera bw’eyagala okulaba ng’ekkomo ku bisanja by’omukulembeze w’eggwanga biddawo era n’ababaka abakiikirira amagye baggyibwe mu Palamenti.
Owek. Mpuuga bino yabitegeezezza bannabyabufuzi okusingira ddala ab’oludda oluvuganya ku Palamenti ku Lwokutaano, bwe yabadde ayanjula emiramwa kw’agenda okutambuliza gavumenti ey’ekisiikirize mu Palamenti.
Ono yannyonnyodde nti baagala okuddamu okuleeta ennongoosereza mu Ssemateeka eza 2019 ezaali zireeteddwa omubaka Wilfred Niwagaba mu Palamenti ye 10.
“Tugenda kukomyawo ennongoosereza mu Ssemateeka eza 2019 ezaali zaagala okuzzaawo ekkomo ku bisanja, okuggya bannamagye mu Palamenti awamu n’okusala omuwendo gwa baminisita okudda ku 21 ssaako ebintu ebirala.” Owek. Mpuuga bwe yategezezeza.
Ennongoosereza zino era zaalimu okukyusa erinnya lya poliisi y’eggwanga okuva ku Uganda Police Force okudda ku Uganda Police Service era zaali zaagala n’okuggyawo ne woofiisi z’ababaka ba Pulezidenti abamanyiddwa nga ba RDC (Resident District Commissioners).
Mpuuga mu kwogera kwe yagambye nti okuva mu mwaka 2014, eggwanga lisuubizibwa okuteekawo akakiiko akalina okuddamu okwekenneenya Ssemateeka naye kino tekituukiriranga.
“Kye tufunye z’ennongoosereza mu mateeka agamu era ekivudde mu kino be bantu okulaba Ssemateeka ng’ekiwandiiko ekikozesebwa bannabyabufuzi okutuukiriza ebigendererwa byabwe.” Mpuuga bwe yakikkaatirizza.
Owek. Mpuuga yagambye nti Ssemateeka alina kulaga ensonga abantu ze bakkaanyaako era alina okulaga ebiruubirirwa n’ebyo abantu abamukkaanyizzaako bye baagala okuziyiza.
“Nsaba ab’oludda oluvuganya okufaayo era bakulembeze ennongoosereza mu mateeka g’ebyokulonda n’amateeka amalala ageetaaga okulongoosa bye tubeera tussaako essira.” Mpuuga bwe yagasseeko.
Mpuuga agamba nti n’obuvunaanyizibwa bw’ebitongole by’okwerinda mu kalulu bulina okuddamu okutunuulwamu kuba baakola emivuyo mingi ekyaviirako akalulu obutabeera k’amazima n’obwenkanya.