Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga, awandiikidde Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah ng’amusaba addemu alowooze ku ky’okuggalawo Palamenti olwa Ssennyiga Corona ekizing’amizza emirimu.
Kino we kijjidde nga Palamenti yaakamala okufulumya ekiwandiiko ekiraga nti ekizimbe kino kigenda kuggalwa okumala Ssabbiiti 2 ezitandise leero ku lwa Mmande nga 28, June 2021 oluvannyuma lw’abamu ku babaka okukwatibwa ekirwadde kya COVID-19.
Ebbaluwa eno eriko ennaku z’omwezi eza June 24, Mpuuga agamba nti, “Ekigendererwa ky’obubaka buno kwe kuba nti ekiwandiiko ekyaggadde Palamenti tekiraga ngeri babaka gye balina okusigala nga batambuzaamu emirimu gyabwe ng’ekizimbe kiggaddwa.
Mu kiseera nga kino Palamenti lw’esinga okubeera ey’omugaso eri abantu baffe.”
Mpuuga agamba nti wadde abamu ku bakozi n’ababaka bazuuliddwamu ekirwadde kino, emirimu gya Palamenti gisobola okukolerwa mu kifo ekirala oba ku mutimbagano nga bwe kirambikibwa mu mateeka agafuga Palamenti.
“Ng’oggyeeko ekyokuba nti amateeka tegagaana babaka na bakozi kugondera biragiro bya Ssennyiga Corona buli kadde nga basobola bulungi okwekebeza buli kadde era abasangiddwa n’obulwadde ne basobola okujjanjabwa.” Mpuuga bw’annyonnyola.
Ono asinzidde wano n’ategeeza Sipiika Oulanyah nga Nnampala w’oludda oluvuganya bwe yeetegese okusindika bammemba ab’enjawulo ku bukiiko bwa Palamenti (Sectoral and Standing Committees) ng’amateeka bwe galambika.
Mu kiseera kino abantu bangi bazuuliddwamu ekirwadde kino omuli n’ababaka oluvannyuma lwa COVID-19 okuddamu okulumba eggwanga nga w’osomera bino nga kisse abantu abawerera ddala 700.