Bya Ssemakula John
Kampala
Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Mathias Mpuuga alondeddwa okukulira oludda oluvuganya mu Palamenti y’e 11.
Owek. Mpuuga asikidde munnakibiina kya FDC, Betty Aol Achan, abadde mu kifo kino olw’okusinza ababaka abangi ku ludda oluvuganya nga kati kizzeemu kibiina kya NUP.
Okusinziira ku kibiina kya NUP, abalala abalondeddwa kuliko omubaka wa Manjiya mu Palamenti John Baptist Nambeshe addidde omubaka Ssemujju Nganda mu bigere ku kifo kino.
Mu balala abalondeddwa ye mubaka Medard Ssegona aweereddwa okukulira akakiiko akalondoola ssente z’omuwi w’omusolo akamanyiddwa nga PAC ng’ono amyukibwa munnakibiina kya JEEME, Asuman Basalirwa.
Omubaka Francis Zaake alondeddwa nga Kamisona wa Palamenti okudda mu kifo kya Francis Mwijukye owa FDC ate ye omubaka omulonde owa Nakawa West, Joel Ssenyonyi n’aweebwa okulira COSASE (Committee on Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises) ekifo ekibaddemu Mubarak Munyagwa.
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP, David Rubongoya, ategeezezza bannamawulire abakung’aanidde ku kitebe ky’ekibiina nti obudde bubadde bubaweddeko ne basalawo okufulumya olukalala luno. Mu balala abafunye ebifo kuliko; omubaka Betty Nambooze, Joseph Ssewungu, Luttamaguzi, Lucy Akello, Flavia Nabagabe, Aisha Kabanda Ojara Martin awamu n’abalala.