Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Mathias Mpuuga, alabudde Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, akomye okutiisatiisa ab’oludda oluvuganya naye abaleke bakole emirimu gyabwe.
Mpuuga bino yabyogeredde mu Kampala oluvannyuma lwa Ssaabaminisita Nabbanja okutegeeza nga gavumenti bw’etandise okunoonyereza ku bakulira obukiiko ku ludda oluvuganya gavumenti ababukozesa okufuna ssente mu bantu be banoonyerezaako.
Bino we bijjidde ng’akakiiko akalondoola enkozesa y’ensimbi z’omuwi w’omusolo aka ‘Public Accounts Committee (PAC), kamaze okutegeeza nga bwe kagenda okunoonyereza ku nsimbi ezayisibwa Palamenti okuyambako abantu abakoseddwa omuggalo.
Nabbanja yagambye nti gavumenti tegenda kuttira muntu yenna ku liiso kasita kinaazuulibwa nti yeenyigidde mu bulyi bw’enguzi nga si nsonga wa gavumenti oba oludda oluvuganya.
“Bangi ku babaka b’oludda oluvuganya abanoonyereza ku bitongole bya gavumenti, mumanyi bwe bakola emirimu gyabwe mu bukiiko, abasinga ku bano bagagga era tukimanyi. Naye ssente zino bazifuna batya?” Nabbanja bwe yabuuzizza.
Ku nsonga eno, Owek. Mpuuga agasseeko nti Nabbanja ky’akola kya kubatiisatiisa era abalemese okunoonyereza ku mazima agakwata ku nsaasaanya n’enkozesa ya ssente z’omuwi w’omusolo.
“ Ndabye ensonga eno ku mutimbagano nga Ssaabaminisita awera okunoonyereza ku b’oludda oluvuganya ku bugagga bwabwe. Njagala okumukakasa obuwagizi bwaffe ku nsonga eno, naye tewali kutiisatiisa kwonna kujja kulemesa kakiiko ka PAC kunoonyereza ku nsimbi emitwalo 10 egyasindikibwa eri bannansi.” Mpuuga bwe yagambye.
Owek. Mpuuga agamba nti ssente zino zaagabwa wansi wa woofiisi Nabbanja gy’akulembera. Noolwekyo okunoonyereza kulina okukolebwa okuzuula amazima ku nsimbi zino.