• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Owek. Mpuuga alabudde gavumenti ku kukozesa obutujju bwa bbomu okulwanyisa abagivuganya

Gambuuze by Gambuuze
October 28, 2021
in Amawulire
0 0
0
Owek. Mpuuga alabudde gavumenti ku kukozesa obutujju bwa bbomu okulwanyisa abagivuganya
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Akulira oludda oluwabula gavumenti, Owek. Mathias Mpuuga asabye abantu okuyambako ab’ebyokwerinda okulwanyisa obutujju mu ggwanga wabula n’abalabula obutakkirizibwa kukozesebwa gavumenti okuyigganya abagivuganya.

Bino Mpuuga yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Palamenti bwe yabadde ayogera ku nsonga z’abatujju abatandise okutega bbomu ezisaanyizzaawo obulamu bwa bannayuganda.

“Twagala okulabula bannansi okwewala embeera ya gavumenti okubakozesa nga bwe twalabye omukyala akola mu bbaala y’e Komamboga bwe yabadde agamba nti abaalumbye baabadde bambadde enkoofiira za People Power. Kino kya bulabe era abawangaalidde wano tumanyi gavumenti eno bw’ekolamu. Noolwekyo mwewale okubakozesa.” Mpuuga bwe yannyonnyodde.

Kino kiddiridde bbomu enkolerere okubwatuka e Kampala n’etta omuwala Emily Nyinaneza, ate endala n’ebwatukira mu bbaasi ya Swift eyali eva e Kampala okudda e Bushenyi era n’efiiramu omuvubuka Isaac Matovu e Lungala mu Mpigi.

Okusinziira ku b’ebyokwerinda obutujju buno bukolebwa abayeekera ba ‘Allied Democratic Forces (ADF) wabula Mpuuga yeebuuza lwaki ab’ebyokwerinda okulabula okwakolebwa Bungereza ku nsonga eno tebakutwala nga kukulu ne basobola okwetegekera embeera eno.

Owek. Mpuuga abantu abasabye okukolagana obulungi ne poliisi era baweeyo amawulire ago amatuufu era beewale okukozesebwa.

Era alabudde gavumenti obutagezaako kusiba butujju buno ku bantu abagivuganya  wabula bakuume bannayuganda kuba bali mu kutya nga beetaaga okukakasa nti gavumenti eri mu buyinza ekyasobolerera ddala okubawa obukuumi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist