Bya Gerald Mulindwa ne Gladys Nanyombi
Mengo
Minisita w’emirimu egy’enkizo mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, Owek. Daudi Mpanga asomesezza abakiise mu Lukiiko lwa Buganda ababadde mu Lusirika ku Buganda Royal Institute ku Mmande obukulu bwa Federo wamu n’amakubo Buganda mweyinza okuyita okugifuna.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Mpanga-1024x683.jpg)
“Federo tulina okugitegeera era okugikwata nga ensonga y’ebyobufuzi eteri nnyangu.Ssi kyangu era kyakutambuliza mu mitendera,” David Mpanga bweyategeezezza.
Mpanga yasabye abantu bulijjo okumanya nti Federo Buganda gyeyagala ya njawulo ku ‘Regional Tier.
“Regional Tier kye kintu ekyava mu kuteesa okuviira ddala mu mwaka ogwa 2005 nga mu budde obwo ensonga enkulu eyaliwo yali ya kisanja, okuggyawo ebisanja nebeera nti yagguzaawo Ssemateeka wamu n’okwongera okumusunsulamu,” Owek. Mpanga bweyanyonyodde.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Minisita-Kiyimba-ne-Sipiika-wolukiiko-1024x683.jpg)
Mpanga yategeezezza nti olw’okuba Ssemateeka yali agguddwawo, Buganda yakozesa akakisa kano okuddamu okubanja Federo era gyebyagwera nga mu nteeseganya zino muvuddemu enfuga eya gavumenti ez’ebitundu.
Ono yanyonyodde nti, Buganda yagaana ‘Regional Tier’ olw’ensonga mukaaga ezaaliko kalumanywera.
“Buganda teyakiriziganya nakintu kya kubeera ne Katikkiro omulonde nga ebintu by’okulonda bikyalimu ensitaano zetulaba n’olwaleero omuli obubbi, enguzi n’obutabeera benkanya,” Mpanga bweyalambuludde.
Mpanga yategeezezza nti,ensonga y’ettaka ly’Obwabaka obubeera nga ebeera mu Disitulikiti ate nga n’ebintu engeri gyebyali bitambula ku nsonga z’eby’ensimbi Buganda teyagisanyukira.
“Waliwo n’ensonga y’okuwamba ebifo eby’ennono. Naye nga byonna obiwumbye wamu nsuubira nti byalibadde bitegeerekeka bulungi era bisobola okukola singa mu by’obufuzi mwalimu okukwatagana n’okukkkiriziganya n’okweyisa mu ngeri y’ekintu ekikulu,” Mpanga bweyalambise.
Owek. Mpanga yalaze nti, mu kadde kano Buganda enoonya engeri gyeyinza okukwatagana n’amawanga amalala mu Uganda gagiwagire ku nsonga ya Federo era nti batunuulidde n’ebibiina eby’obufuzi, ebibiina by’obwannakyewa ,ebitongole n’ abantu yonna gyebali okubagazisa enfuga eno.
“Federo tejja kusobola kukola nga ennyumba emu mu Estate yokka yerina enkizo ku nnyumba zinaazo,” Mpanga bweyagambye.
Owek. Mpanga yakalaatidde abakiise nga bwewatali kkubo limu elyetengeredde wabula balina okulaba nga waliwo okukkaanya era nga boogeza eddoboozi limu okusobola okuggusa ensonga eno.