
Bya Gerald Mulindwa
Kisubi – Busiro
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ayagala wabeewo okwekeneenya abantu ababbulwamu enguudo, ebizimbe n’ebifo eby’enkizo babeere nga beebo abasaanidde ate bano babeere nga bannansi baakuno.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku St. Mary’s College Kisubi ku mukolo gw’Olunaku lwomutuukirivu we ssomero lino, Maama Maria, wamu nokuggulawo ekizimbe ekibbuddwa mu mugenzi Dr. Paul Kawanga Sssemwogerere ku Lwokutaano.
Owek. Mayiga agamba nti kyennyamiza okulaba nga enguudo ezimu mu Kampala zirina amannya g’abazungu n’abafuzi b’amatwale ate nga abantu bano baakola ebikolobero ku bannansi.
Ono awadde eky’okulabirako ekya Colville Street kyagambye nti erinnya eryo lyandibadde terikyalikozesa wano kubanga omuntu ono yatta abantu abawerako ku nsonga ezitamatiza.

Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti abantu abatuufu beebo nga omugenzi Dr. Paul Kawanga Sssemwogerere eyali omukakkamu, omwerufu, omuwuliriza, munnabyabufuzi eyawuliziganyanga n’oludda lwavuganya, eyayagala eggwanga ate nga yakolerera nnyo Obwakabaka era ajjukirwa nnyo mu kuteekateeka amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka agaasooka.
Omugenzi Kawanga Sssemwogerere yasomera ku ssomero lino era olw’ebirungi byeyakolera e ggwanga n’aweesa St Mary’s College Kisubi ekitiibwa, y’ensonga lwaki ba mubbuddemu ekizimbe.
Omukolo gukulembeddwamu ekitambiro kya mmisa ekikulembeddwamu Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere, era abayizi 67 bafunye e saakalamentu lya kofirimansio.
Minisita w’enkulaakulana y’Abantu Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, Oweek Joseph Mulwannyammuli Ssemogerere, Omulangira Dan Kajjumba, Ssebwana Charles Kiberu kisiriiza, n’abakungu abawerako beetabye ku mukolo.

Ekizimbe ekibbuddwa mu mugenzi Dr. Paul Kawanga Sssemwogerere kiwerako emyaliiro 4 okuli ebibiina by’abayizi, Computer Lab n’etterekero ly’ebitabo.









