
Bya Ssemakula John
Namirembe – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde abantu aboogerera obufumbo ebikikinike nga nabamu tebabubeerangamu kyagambye nti kiremeseza bangi okwewangulira obufumbo obutukuvu olw’okutya okubateekebwamu.
Okwogera bino abadde ku mukolo gw’okugatta Stellah Nandawula ne Charles Ssendagire Nsibirwa ku Lutikko ya Paul Omutukuvu e Namirembe nga bano Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Rt. Rev. George Ssenabulya yabakubisiza ebiragaano.
Owek. Mayiga ategeezezza nti obufumbo kyekimu ku bigumizza ebika erimu ku masiga mu bwakabaka nga kino kyeyolekera mu bano okukola omukolo gw’okwanjula ekika ekyenvuma neky’ensenene nebivaayo bulungi nabasaba okubikuuma.
Mayiga era avumiridde eky’okuwa abaana erinnya erimu nategeeza nti ebika mu Buganda birina amannya ag’enjawulo naye bwegaba tegatuumibwa gajja kuddibizibwa nasaba kino okukoma mu bwangu.

Bw’abadde abagatta omulabirizi Ssenabulya abasabye okukuuma obwesigwa buli omu eri munne era beewale ebitera okuvaako obutabanguko mu maka okusobola okuwangaaza obufumbo buno.
Ono avumiridde ebikolwa byobwenzi mu bufumbo byagambye nti nabyo bireeta nnyo enjawukana mu bafumbo kyokka namusaba okujjukira ebigambo byeyamugamba mu pulogulamu gyeyakola bweyamubuuza akikoze atya okutuuka ku myaka 60 mu bufumbo ne munne.
Stellah Nandawula asoma mawulire, yakola pulogulaamu ya mubuufu, nendala ku BBS Terefayina ate Charles Ssendagire Nsibirwa naye munnamawulire akolera ku mukutu gwa NBS TV era bano oluvudde mu kugattibwa nebasembeza abagenyi baabwe ku Victoria Shower Gardens e Bunga.
Abagole bano wiiki ewedde bakola omukolo gw’ennono ogw’okwanjula ogwayindira e Wakiso mu maka g’abakadde ba Stellah Nandawula era omukolo guno gwaliko n’omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa awamu n’abakungu abalala.
Omukolo gw’okugattibwa gwetabiddwako omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Haji Prof Twaha Kaawaase Kigongo, Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, abakulira ekitongole kya BBS Terefayina Omuk. Patrick Ssembajjo, Akulira abakozi Petua Luutu, akulira entambuza yemirimu Steven Dunstan Busulwa nabamu ku bakozi.









