Bya Sameul Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga abakubiriza bannamawulire ku mikutu egy’enjawulo okuwandiika amawulire mu butuufu bw’ago olwo abantu babeyunire nabo bakulaakulane.
Okwogera bino Kamalabyonna Mayiga abadde asisinkanye abakampuni ya BBEG Media mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.
Bannamawulire Katikkiro agamba basaanye okuba abagumikiriza olwo lwebajja okutuuka ku buwanguzi.
Katikkkiro Charles Peter Mayiga akulisiza kkampuni ya BBEG Media olw’okumala emyaka ebiri mu kisaaawe ky’Amawulire agatambulira kumutimbagano.
Owek. Mayiga abategezeeza nti eby’empuliziganya biyise mu nkyuukakyuuka ez’enjawulo okutuuka webiri kati era omutimbagano gukyuusiza ebintu bingi nnyo ensangi zino nga obubaka bungi nnyo bulabibwa mu kibatu ky’engalo n’olwekyo BBEG Media egidde mu kisera kirungi nnyo.
Ono abannyonnyodde nti Obwakabaka bulowooza nti kikulu okutambula n’emikutu egy’enjawulo okubuna buli kitundu okusasaanya amawulire agabukwataako.
Akulira BBEG Media, Mw. Idris Kiggundu alaze omutindo gw’abannamawulire abekibogwe abaze ensangi zino nasaba Obwakabaka okubarungamya mu ntambuza y’emirimu gyabwe.