
Bya Musasi Waffe
Butambala
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza Bannabutambala okunnyikiza ennono n’obuwangwa bwabwe kibayambeko okunyweza ekitiibwa kya Buganda n’okugizza ku ntikko.
Bino Katikkiro Mayiga abiyisizza mu bubaka bwatisse Katambala, Hajji Sulaiman Magala eyamukiikiridde ku mukolo gw’okwabya olumbe lwa Juma Ssekatawo, e Kitagobwa, mu Butambala eggulo ku Ssande.
Owek. Mayiga yagambye nti abantu bwebanywerera ku nnono n’obuwangwa bwabwe, nebabisomesa n’abaana babwe kijja kuyamba okuzimba eggwanga mu ngeri ez’enjawulo.
Eyakiikiridde Jjajja w’Obuyisiraamu Omulangra Kassim Nakibinge, Sheik Abdu Nuhu Lunaanoba yasabye Bannabutambala okwekwata Katonda ate basomese abaana bwebaba baagala okugenda mu maaso.
Ye Omuk. John Fred Kiyimba – Freeman, ye yakiikiridde bannamukago, n’akubiriza Bannabutambala okukozesa obulungi ettaka, balime emmere, awamu n’emmwaanyi basobole okwegobako obwavu.









