• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyenjigiriza

Owek. Mayiga asabye abazadde okuyambako n’okukuza ebitone mu baana

Gambuuze by Gambuuze
November 26, 2024
in Ebyenjigiriza
0 0
0
Owek. Mayiga asabye abazadde okuyambako n’okukuza ebitone mu baana
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Mbuya – Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abazadde bayambeko okuzuula ebitone mu baana era babikuze kuba birina obusobozi okubayimirizaawo mu biseera eby’omu maaso baleke kukoma ku byanjigiriza.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku kivvulu ky’abaana ba Mbuya Parents School ekitegeddwa ku Olive School e Namugongo Ggombolola Ssaabaddu Kira ku Lwokubiri.

“Abazadde muleme kutya, omwana asobola okuba ow’ekitalo nga asamba mupiira, nga muyimbi oba nga muzinnyi era  kyetulabye wano kiraga nti twagala abaana bavumbule ebitone byabwe era babikuze,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Owek. Mayiga yeebazizza olw’omutindo oguli ku ssomero lino okuviira ddala ku bizimbe nategeeza nti kino kyakuyamba abaana okulowooleza mu bintu ebinene bwatyo naalabula abantu ku kwagala okukola ebintu ebyamangu.

Ono asabye abazadde okusigamu empisa ez’obuntubulamu banguyirwe obulamu.

Katikkiro Mayiga yeebazizza omutandisi w’amasomero gano olw’okwagala Obwakabaka era naalaga obukulu bw’ebyenjigiriza ku nkulaakulana y’ensi.

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Nakate Kikomeko yeebazizza abatandisi b’essomero lino olw’okuteeka ettofaali ku byenjigiriza by’eggwanga  kubanga kino Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka kyayagala ng’abaana bafuna ebyenjigiriza ebiri ku mutindo ate  nga bisoboka.

Owek. Nakate  ategeezezza nti Obwakabaka  bwetegefu okukwasizaako abaana b’eggwanga mu Sekendule awamu ne Yunivaasite  basobole okufuna ebiseera by’omu maaso ebirungi.

Omutandisi w’essomero lino Betty Tushabe ategeezezza nti Katonda yabasobozesezza okukola omulimu omulimu ku bisale ebitono era nga bakola byonna okuteekateeka abaana mu mbeera zonna nebatakoma ku byansoma byokka.

Tushabe agamba nti singa omwana omuto ateekebwamu ekyo kyalina okubeera kibeera kizibu okubivaako era singa kino kiteekebwamu amaanyi eggwanga libaganyulwamu kinene.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist