
Bya Ssemakula John
Mbuya – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abazadde bayambeko okuzuula ebitone mu baana era babikuze kuba birina obusobozi okubayimirizaawo mu biseera eby’omu maaso baleke kukoma ku byanjigiriza.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku kivvulu ky’abaana ba Mbuya Parents School ekitegeddwa ku Olive School e Namugongo Ggombolola Ssaabaddu Kira ku Lwokubiri.
“Abazadde muleme kutya, omwana asobola okuba ow’ekitalo nga asamba mupiira, nga muyimbi oba nga muzinnyi era kyetulabye wano kiraga nti twagala abaana bavumbule ebitone byabwe era babikuze,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Owek. Mayiga yeebazizza olw’omutindo oguli ku ssomero lino okuviira ddala ku bizimbe nategeeza nti kino kyakuyamba abaana okulowooleza mu bintu ebinene bwatyo naalabula abantu ku kwagala okukola ebintu ebyamangu.
Ono asabye abazadde okusigamu empisa ez’obuntubulamu banguyirwe obulamu.
Katikkiro Mayiga yeebazizza omutandisi w’amasomero gano olw’okwagala Obwakabaka era naalaga obukulu bw’ebyenjigiriza ku nkulaakulana y’ensi.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Nakate Kikomeko yeebazizza abatandisi b’essomero lino olw’okuteeka ettofaali ku byenjigiriza by’eggwanga kubanga kino Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka kyayagala ng’abaana bafuna ebyenjigiriza ebiri ku mutindo ate nga bisoboka.
Owek. Nakate ategeezezza nti Obwakabaka bwetegefu okukwasizaako abaana b’eggwanga mu Sekendule awamu ne Yunivaasite basobole okufuna ebiseera by’omu maaso ebirungi.
Omutandisi w’essomero lino Betty Tushabe ategeezezza nti Katonda yabasobozesezza okukola omulimu omulimu ku bisale ebitono era nga bakola byonna okuteekateeka abaana mu mbeera zonna nebatakoma ku byansoma byokka.
Tushabe agamba nti singa omwana omuto ateekebwamu ekyo kyalina okubeera kibeera kizibu okubivaako era singa kino kiteekebwamu amaanyi eggwanga libaganyulwamu kinene.
